Manyangwa FC etaamye bugo, eramuza Big League
Nov 14, 2022
Tiimu y’omupiira gw'ebigere eya Manyangwa FC esambira mu kibinja kya FUFA Buganda Regional League eyongedde okwenywereza ku kimeeza bw'ekubye Simba FC ggoolo (1-0).

NewVision Reporter
@NewVision
Ggoolo yateebeddwa Kizza Kiwatule mu mupiira ogwayindidde ku kisaawe kya Manyangwa e Gayaza.
Manyangwa kati erina obubonero 12 mu mipiira ena gye yaakasamba tanakubwaamu.
Abazannyi Ba Manyangwa Fc Nga Bajagannya Oluvannyuma Lw'okuteeba ggoolo
George Best Nsimbe eyali omutendesi wa KCCA FC nga kati y'atendeka Manyangwa FC nga amyukibwa Muhammad Sseruwagi.
Bano baayongedde okuwaga ne bategeeza nti ekigendererwa kyabwe kutwala ttiimu eno mu Big League.
Related Articles
No Comment