Empaka zino zaakubumbujjira ku MTN Arena e Lugogo era enjuyi zombi zeewera kwekeesa miguwa.
Ennwana zino ezitegekeddwa aba ‘Big Bang Boxing Promotions’ zituumiddwa ‘Uganda Vs Dubai Night Of Champions’.
Batatntu (ku Kkono) Mu Kutendekebwa Nga Yeetegekera Olulwana ‘vvaawo Mpitewo’ Ne Ignatius Onyango.
Zaakwetabwamu abakubi b’ebikonde okuva mu nsi ez’enjawulo okuli okusingira ddala Uganda ne U.A.E kw’ossa Cuba, Tanzania ne DR.Congo.
Mu lulwana olukulu, Solo Musa Batantu okuva e Dubai waakuttunka ne Ignatius Onyango mu buzito bwa Light Heavy lawundi 8, Abdul Aziz Ssebulimu eyakazibwako erya ‘InnoLee DeHitman ng’ono naye w’e Dubai bumwefuke ne Nicholas Musomami mu buzito bwa ‘welter’, so ng’ate Yusuf Babu waakulya matereke n’Omu Tanzania Alphonce Muchomiatumbo mu buzito bwa Heavy lawundi 8.
Mu balala, David Ssemujju bwakumwefuka n’Omutanzania Salehe Mkalekwa mu buzito bwa ‘Super welter’, Dayan Gonzalez enzaalwa ya Cuba attunke ne Zubair Nadhomie owa Uganda n’endala.
Ben Nsubuga omutegesi w’ennwana zino agamba nti basuubira okuvuganya okw’amaanyi mu bazannyi bonna.