Cranes ewuttuddwa Ivory Coast 3-1 Micho ne yeegumya: 'Twakoze buli kimu ne bigaana'
Jan 23, 2023
OMUTENDESI wa Uganda Cranes Milutin Sredojevic Micho yeegumizza nga ttiimu ye bwe yakoze buli ekisoboka wabula omukisa tegwabadde ku ludda lwabwe okuva mu kibinja kya CHAN.

NewVision Reporter
@NewVision
African Nations Championship (CHAN)
Uganda 1-3 Ivory Coast
Senegal 3-0 DR. Congo
Eggulo (January 22, 2023), Cranes yalemeddwa okuva mu kibinja omulundi ogwomukaaga ogw’omuddiring’anwa ekyalese bannayuganda nga boogerera Micho ebisongovu.
Uganda yakubiddwa Ivory Coast (3-1) mu mupiira ogw’abadde guggalawo egy’ekibinja B, Cranes kye y’azze ng’ekulembedde n’obubonero 4, Senegal (3), DR. Congo (2) ne Ivory Coast (1).
Uganda y’abadde yeetaaga maliri gokka okwesogga ‘quarter’ nga bw’etunuulira ebiva mu gwa Senegal ne DR. Congo. Senegal eyabadde eyookubiri yakubye DR. Congo (3-0) n’ekulembera ekibinja.
Ivory Cost yenkanyizza obubonero 4 ne Uganda wabula n’eyitirawo ku njawolo ya ggoolo emu yokka oluvannyuma lwa Cranes okubeera ng’ebanjibwa ggoolo emu.
Guno gwe mukisa Uganda gw’ebadde nagwo okwejjako ekikwa kya sizoni mukaaga gy’emaze nga yeetaba mu mpaka zino (2011, 2014, 2016, 2018, 2020 ne 2023) wabula era byagaanye.
“Twakoze buli ekisoboka, guno gwe gubadde omwaka gw’affe okuva mu kibinja wabula omukisa tegwabadde ku ludda lwaffe, abazannyi mbeebaza okwewaayo ate ne mbasaba obutaggwaamu maanyi, omupiira gusigala mupiira,” Micho bwe yeegumizza.
No Comment