Meeya w'e Kasangati yeeyamye ku bisaawe

Feb 25, 2023

Kasangati Mayors Cup: Omupiira; Young Money 4-1 Gayaza Okubaka; Kabanyoro 27-21 Gayaza Ladies MEEYA wa Kasangati Town Council, Tom Muwonge agambye nti waakufunvubira okulaba ng’ekisaawe ky'e Wampeewo ne Kitegombwa, ebikuzizza abasambi mu kitundu kye binunulwa okuva mu bamusigansimbi bidde mu mikonogy’abantu.

NewVision Reporter
@NewVision

Kasangati Mayors Cup: Omupiira; Young Money 4-1 Gayaza Okubaka; Kabanyoro 27-21 Gayaza Ladies MEEYA wa Kasangati Town Council, Tom Muwonge agambye nti waakufunvubira okulaba ng’ekisaawe ky'e Wampeewo ne Kitegombwa, ebikuzizza abasambi mu kitundu kye binunulwa okuva mu bamusigansimbi bidde mu mikono
gy’abantu.
Muwonge, eyaliko omuzibizi mu KCC FC ne SC Villa, yeebazizza Faaza w’ekigo ky'e
Gayaza, Jude Makanga okutuukiriza obweyamo bw'okubateekerawo ekisaawe ekirala (ekiriraanye Lufula) kati abantu kye bakozesa.
Yabadde ku kisaawe kino ku fayinolo y’empaka ze eza Kasangati Mayor's
Cup, eziyindidde emyezi ebiri nga zeetabiddwaamu ttiimu 18 ez’omupiira gw'abasajja n'endala 6 ez'okubaka okuva mu miruka mwenda egikola Kasangati.
Mu basajja, Young Money FC yeeriisizza nkuuli bwe yakubye Gayaza FC (4-1) ku fayinolo. Eno era mwe mwavudde omuteebi w’empaka, Hassan Mubiru (atali eyaliko ssita wa Express), eyateebye ggoolo 11, ne ggoolokipa w'empaka, George Semakula
(atali omuvuzi wa mmotoka z'empaka).
Mu kubaka, Meeme Nabukalu owa Kabanyoro ye yasinze nga yayambye ne ttiimu ye okumegga Gayaza Ladies (27-21). Abawanguzi baafunye
ebikopo ne sseddume z'ente. Muwonge yabaddn  ne bazadde be Joseph
ne Florence Muwonge, n'omubaka omukazi owa Wakiso mu Palamenti,
Betty Naluyima, wamu ne bakkansala ba Kasangati, abaagabye ebirabo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});