Eza Autocross e Gomba zicamudde musaayimuto Bebeto n'awaga
Feb 26, 2023
MUSAAYIMUTO Kevin Bebeto abuze okufa essanyu bw’amalidde mu kifo kya 6 mu za ‘MOSAC Gomba Autocross rally 2023

NewVision Reporter
@NewVision
Musaayimuto Kevin Bebeto abuze okufa essanyu bw’amalidde mu kifo kya 6 mu za ‘MOSAC Gomba Autocross rally 2023’ ezisookedde ddala ku kalenda y’emmotoka z’empaka omwaka guno.
Kevin Bebeto.
Bebeto 17, mu Toyota Run X guno gwe mulundi ogwasoose okwetaba mu mmotoka z’empaka wakati ng’avuganya bakafulu mu muzannyo guno okuli; Jonas Kansiime mu Mitsubishi Evo 8, Fred Kitaka Busuulwa (Subaru Impreza), Oscar Ntambi (Toyota Alteza), Issa Nyanzi (Subaru Impreza N10), n'abalala.
Agamba nti okuvuganya abasajja ab’amaanyi kimuwadde obuvumu nti gye bujja agenda kufuuka omuvuzi ow’amaanyi mu ggwanga lino, ku lukalu lwa Afrika ne mu nsi yonna ng’ekirooto kye bwe kiri.
Mmotoka Ya Fred Busuulwa Kitaka E Gomba.
“Bwe natunuulidde Kansiime, Kitaka, Ntambi omutima ne gunkuba ejjebe era obwedda ndowooza mmotoka ng’enda kugikuba ekigwo naye oluvannyuma lw’okwetooloola omulundi ogusooka nfunye obuvumu,” Bebeto bwe yategeezezza.
Agattako nga bw’agenda okusigala nga yeetaba mu mpaka entonotono sizoni eno kimuyambe okumanyiira omuliro gwa mmotoka olwo omwaka ogujja ng’awezezza emyaka 18, yeeyimbe mu mpaka ez’amaanyi.
Eza ‘MOSAC Gomba Autocross rally 2023’ zaawanguddwa Kansiime bwe yakozesezza eddakiika 09:01 mu lugendo lwa kiromitta 141 bonna lwe beetoolodde, y’addiriddwa Kitaka (09:54), Ntambi (10:18), Topher Kateera Kituzi (00:10:32), Issa Nyanzi (00:10:34), Kevin Bebeto (00:10:45) n'abalala.
Mmotoka Ya Jonas Kansiime E Gomba.
Zaabadde ku kisaawe kya munnabyamizannyo Julius Kavuma Kabenge ku kyalo Mabuye mu Ssaza ly’e Gomba mu disitulikiti y’e Bukandula.
Anthony Mugambwa eyakuliddemu akutegeka amakubo yeetondedde abawagizi olw’omuwendo gwa baddereeva 10 bokka abaavuze olw’ensonga nti abasinga beetegekera z’e Bukedea eziri ku kalenda ya NRC ezisigazza ennaku 12.
MOSAC Gomba autocross rally 2023
Jonas Kansiime 00:09:01
Fred Busuulwa Kitaka 00:09:54
Oscar Ntambi 00:10:18
Topher Kateera 00:10:32
Issa Nyanzi 00:10:34
Kevin Bebeto 00:10:45
No Comment