KCCA ne NIC zisiitaanye okufuna obuwanguzi mu liigi y’okubaka

Mar 26, 2023

Kkiraabu ya KCCA etannakubwamu sizoni eno eyongedde okutangaaza emikisa gy’okuwanguala ekikopo kya liigi

NewVision Reporter
@NewVision

Kkiraabu ya KCCA etannakubwamu sizoni eno eyongedde okutangaaza emikisa gy’okuwanguala ekikopo kya liigi y’okubaka eya Uganda Netball Super league  oluvannyuma lw’okuwangula emipiira gyabwe ebiri gye bazannye ku kisaawe e Kibuli.

Shadia Nassanga Owa Kcca Nomupiira Bwe Baabadde Basiitaana Okumegga Mutlex Life Sport.

Shadia Nassanga Owa Kcca Nomupiira Bwe Baabadde Basiitaana Okumegga Mutlex Life Sport.


Omupiira gwabwe ogusoose gubadde wakati wa Mutlex Life Sport eyaakasuumuusubwa mu liigi sizoni eno era bano omupiira guno tegubatambulidde bulungi oluvannyuma lw’okuguwangulira ku ggoolo 53 ku 33 ekibateeka awazibu ssinga batuuka nga beetaaga bungi bwa ggoolo okuwangula ekikopo.

Omuzannyi Wa Nic Racheal Nanyonga N'omupiira Bwe Baabadde Battunka Ne Ucu.

Omuzannyi Wa Nic Racheal Nanyonga N'omupiira Bwe Baabadde Battunka Ne Ucu.

Oluvannyuma lw’omupiira okugwa, omutendesi wa kkiraabu Fred Mugerwa yeevumye eky’okuyimiriza liigi nti kyazza nnyo foomu yabazannyi be emabega kwosa nobuvune bwabazannyi okuli n’omuzibi Shaffie Nalwanja eyetaaga okulongosebwa eviivi.

Omupiira omulala gwe baazannye bakubye Africa Renwal University ggoolo 62 ku 43."Tulina abazannyi Abasiraamu nga bwe mumanyi nti ekisiibo kyatandise bano baba banafumu ko nga bazanNya. Wabula tugenda kukola kyonna ekisoboka okulaba nga tetukubwa mupiira gwonna mu liigi sizoni eno," Mugerwa bwe yannyonnyodde.

Omutendesi Wa Nic Rashid Mubiru (owookubiri Ku Ddyo) Ng'alambika Abazannyi Be.

Omutendesi Wa Nic Rashid Mubiru (owookubiri Ku Ddyo) Ng'alambika Abazannyi Be.

Ate bo bakyampiyoni ba liigi sizoni ewedde aba NIC baasanze akaseera akazibu okumegga UCU ggoolo 43 ku 38.Okwawukanako ne lawundi ya liigi eyasooka, mu lawundi eno eyokubiri yakola enkyukakyuka mu luzibi oluteebi bweyaleeta  muteebi Bashira Nassazi.

Nassaazi asobola okuzannya oludda olubuteebi ko  n’oluzibizi nga mu kitundu ky’omuzannyo ekisembe NIC kate bagisuuze obuwanguzi ono bwe bamukyusiza okuva ku ludda oluteebi nadda mu kuzibira.

Omupiiira we guggweeredde nga NIC eguwangudde ku ggoolo 43 ku 38. Sarah Nakiyonga, omuzannyi wa NIC yategeezezza nti ggoolo ze baatebye mu mupiira gwa UCU zibadde ntono nnyo okusinziira ku kiruubirira kye balina sizoni eno.

"Bwe tuba nga ekikopo tuli baakukitwalira ku bungi bwa ggoolo, twetagira ddala okuteeba ggolo eziwera," Nakiyonga bwe yakakasizza.

Omutendesi Wa Ucu Nelson Boogere N'omuzannyi We Nga Bali Mu Kibalo.

Omutendesi Wa Ucu Nelson Boogere N'omuzannyi We Nga Bali Mu Kibalo.


Abalala abazannye leero Busia Greater Lions olugendo oluva e Busia lubamenyedde bwereere bwe bakubiddwa emipiira gyonna ebiri gye bazannye nga mu gusoose bakubiddwa Makindye Weyonje ggoolo 77 ku 36 ate mu gwokubiri bakubiddwa UCU ggoolo 80 ku 31.

KCCA ye kkiraabu yokka etannakubwamu sizoni eno era ekulembedde liigi n’obubonero 30, Prisons kyakubiri n’obubonero 26 nga ebwenkanyankanya ne NIC abali mu kyokusatu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});