Kampala efuluuta omupiira gwadda Wakiso

Apr 10, 2023

KOLOLO SS, Kibuli SS, Lubiri SS ne St. Mary’s High School Lubaga ge gaali sseggwanga mu mipiira gy’amasomero wakati wa 1986 ne 2000 nga galina n’ehhombo nti, “Enkoko y’omu kyalo tekookolima ng’erabye ey’e Kampala.”

NewVision Reporter
@NewVision

KOLOLO SS, Kibuli SS, Lubiri SS ne St. Mary’s High School Lubaga ge gaali sseggwanga mu mipiira gy’amasomero wakati wa 1986 ne 2000 nga galina n’ehhombo nti, “Enkoko y’omu kyalo tekookolima ng’erabye ey’e Kampala.”

Mu bbanga lino, St. Leo College Kyegobe e Fort Portal lye lyokka ebweru wa Kampala eryaliko kyampiyoni w’eggwanga.

Okuva mu 2001 ebintu byakyukamu Old Kampala ne yeenyigawo era n’ewangula ekikopo (2003).

Sseggwanga z’omu kyalo zaatandika obutatya z’e Kampala era Ngabo Academy (Mbarara) yawangula mu 2001, Naggalama Islamic (Mukono) (2002) ssaako Buddo SS ne St. Mary’s Kitende (Wakiso) mu 2003 ne 2004.

Okuva 2000, Kololo SS ne Lubiri zaazaayira ddala, Old Kampala yagoberera nga Kibuli yokka y’eriwo ebiisanya ne ‘sseggwanga z’omu byalo’. Lubaga tesukka ‘quarter’.

Kibuli yaakawangula ebikopo 11 (likodi) kyokka Kitende, eyagisanga ku 8, erina 10!

Okuva mu 2004, Kibuli ye yokka eya Kampala etutte ku kikopo kino (emirundi 3)
ng’egisigadde gya ‘sseggwanga z’omu byalo’.

Kibuli yasemba okuzannya fayinolo mu 2016 sso nga St. Andrew SS Gombe ly’eddala erya Kampala erigizannyeeko mu myaka 8! (Lyakubwa Kitende omwaka oguwedde). Emyaka 4 nga sseggwanga z’omu byalo zokka ze zikookolima mu kikopo ky’amasomero, kiswaza eri Kibuli ne banne abeeyitanga sseggwanga z’e Kampala.

Kati Kitende, Buddo, Jinja SS, Jinja Progressice, Standard High Zzana, St. Julian ne Royal Giants (Mityana) ge gatiisa mu gy’amasomero.

Mu gisunsula abaneetaba mu z’omwaka guno e Fort Portal, amasomero g’e Wakiso tegaakomye kuba na nteekateeka nnungi naye n’omutindo gw’omupiira gaalaze musuffu.

Ag’e Kampala, gajjukirwako vvulugu wa ‘bacuba’ na bbula lya bisaawe nga n’omutindo gwabadde gwa kibogwe.

Agamu nga Kyambogo College, Kololo High, Lubiri ne Gombe gakyakukkuluma.

Nneebaza Kitende, Buddo, Standard High ne St. Julian okwekuumira ku mutindo mu Wakiso ssaako Jinja SS, JIPRA ne Royal Giants abakookolima.

Kibuli ne Lubaga nammwe mwebale okukuuma bendera ya Kampala. Abaddukanya omupiira mu Kampala kye kiseera muve mu tulo mulabe bwe mukomyawo ekitiibwa ky’amasomero gammwe, ekyatwalibwa Wakiso n’okusingira ddala Kitende.
.
kkawuma@newvision.co.ug
0772 371 990

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});