Aba Sport-s Volleyball Club bakubye UCU sumaggiza ne bagiwangulako ekikopo kya Volleyball w'abasajja

May 10, 2023

TTIIMU y’abasajja ba Sport-s Volleyball Club evudde mabega okumegga UCU Doves ku fayinolo ya liigi y’oku ntikko n’esitukira mu kikopo ekirese aba UCU nga bawotookeredde.

NewVision Reporter
@NewVision

TTIIMU y’abasajja ba Sport-s Volleyball Club evudde mabega okumegga UCU Doves ku fayinolo ya liigi y’oku ntikko n’esitukira mu kikopo ekirese aba UCU nga bawotookeredde.

UCU Doves yaggulawo ensiike ya fayinolo esooka n’obuwanguzi bwa ‘Set’ 3-2 (25-23, 26-24, 18-25, 18-25 ne 16-14) wabula Sport-s men Volleyball Club yakomawo n’amaanyi mu nsiike eyookubiri ne yeesasuza ‘Set’ 3-1 (25-20, 26-24, 23-25, 25-14) ne basibagana wiini (1-1).

Ssande yabadde ya busungu eri ttiimu zombi ezaabadde ku kisaawe ekibikke ekya Old Kampala Arena nga badding’anye mu nsiike eyookusatu eyadde esalawo ani kyampiyoni w’ekikopo kya sizoni eno.

Sport-s men Volleyball Club ebadde emaze emyaka 14 nga tewangula kikopo kino era gye byaggweeredde nga yeggyeeko ekikwa kino bwe yawangudde ensiike eyookusatu 3-0 (25-23, 25-14 ne 26-25).

Omutendesi wa Sport-s men Volleyball Club Benon Mugisha agamba nti ttiimu ebaddemu abazannyi abapya bangi era okuwangula ekikopo kino kitegeeza bingi n’okubazzaamu amaanyi nti beegatta ku bawanguzi. “Tugenda kusigala tukolera wamu ne sizoni ejja, tetwagala kuddamu kumala myaka 14 gye tubadde tumaze nga tetuwangula, kino kirina kubeera kitundu kuffe,” Mugisha bwe yategeezezza.

Okutuuka ku fayinolo, Sport-s men Volleyball Club yaggyamu OBB bakyampiyoni ba sizoni ewedde ku mugatte gwa wiini (2-1) ate UCU Doves yawandulamu Kampala Amateur Volleyball Club (KAVC) ku mugatte gwa wiini (2-1).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});