Kitara ne Mbarara bakomyewo mu liigi ya babinywera sizoni ejja
May 13, 2023
KITARA FC ne Mbarara City FC mu Big League zikyacacanca lwokukasibwa ku ttiimu ezisuumusiddwa okwesogga liigi y’eggwanga ey’oku ntikko eya ‘Star Times Uganda Premier League’ sizoni ejja.

NewVision Reporter
@NewVision
Egyazannyiddwa mu Big League
Soroti City 2-0 Luweero United
Lugazi 1-1 Kataka, Lugazi
Jinja North 2-0 Calvery
Booma 0-1 Police
Northern Gateway 0-2 Ndejje University
Kaaro Karungi 0-2 Mbarara City
Adjumani T/C 0-3 Kitara
NEC 2-1 Kyetume
KITARA FC ne Mbarara City FC mu Big League zikyacacanca lwokukasibwa ku ttiimu ezisuumusiddwa okwesogga liigi y’eggwanga ey’oku ntikko eya ‘Star Times Uganda Premier League’ sizoni ejja.
Kitara
Kiddiridde obuwanguzi Kitara bwe yafunye ng’emegga Adjumani Town council ku bugenyi (3-0) ate ne Mbarara City n’emegga Kaaro Karungi (2-0). Zino zombi zaakakasiddwa ng’ekyabulayo omupiira gumu sizoni ya Big League okukomekkerezebwa mu butongole.
Mbarara City ebadde yakuba Kaaro Karungi (1-0) mu mupiira ogwasooka nga kati yabazze mu biwundu (2-0) ate Kitara nayo ebadde yawangula Adjumani Town council (2-1) mu gwasooka, kati yazzeemu okubabonereza (3-0).
Kit 6(2)
Omupiira gwa Mbarara City gw’esembyayo ng’ekyaza Northern Gateway gye baakola nayo amaliri (1-1) mu gwasooka, tegukyakola makulu eri Mbarara ate n’eri Northern Gateway tegukyagiyamba kuba yasaliddwaako okuddayo mu ligyoni.
Mu ngeri y’emu Kitara gw’esembyayo ng’ekyazizza Kaaro Karungi nagwo tegulina makulu eri Kitara ate ne Kaaro Karungi tegwetaaga kuba ne bagikuba tekyasobola kusalwako wadde ttiimu ezigiri wansi zonna ziwangudde ogusemba.
Guno mulundi gwakubiri nga Kitara ezannyira mu liigi ya babinywera, ebadde yasalwako sizoni ya 2021/2022 ate ne Mbarara ekomyewo gwakusatu, ebadde yaakasalwako sizoni y’emu 2021/2022.
Kitara ekulembedde liigi n’obubonero 58, Mbarara City (57), NEC (54) ne Police FC (53). Kati olutalo lukayli wakati wa NEC ne Police okufunako ttiimu eyookusatu okwegatta ku Kitara ne Mbarara ku bifo ebisatu ebya ttiimu za Big League ezirina okwesogga ‘Super’ buli luvannyuma lwa sizoni.
Georffrey Sserunkuuma ne Paul Mucureezi
NEC yeesasuzza Kyetume (2-1) eyali yagikubira e Nakisunga (2-1) mu nsiike eyasooka. Okusobola okwesogga ‘Super’ beetaaga wiini wiiki ejja nga bakyalira Kataka FC mu gusembyayo gye baagikubira e Bugoloobi (2-0).
Police FC yafunye wiini (1-0) ku Booma eyabalumba e Kavumba n’ebaggyako amaliri ga (2-2) ate wiiki ejja mu nsiike esembayo, bakyaza Jinja North gye baakuba (1-0) mu gwasooka.
Police emikisa gyayo okwesogga ‘Super’ mitono ddala, erina kunnyookeza kabbaani n’okusaba ennyo NEC ekubwe Kataka mu mupiira ogusemba
No Comment