Shafic Kiwanuka atiisizza okusazaamu endagaano ye ne ‘Great Strikers International Boxing Promotions’

May 17, 2023

OMUGGUNZI w’enguumi Shafic Kiwanuka alangiridde nga bw'avudde mu kampuni ya ‘Great Strikers International Boxing Promotions’ eyamukansa.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUGGUNZI w’enguumi Shafic Kiwanuka alangiridde nga bw'avudde mu kampuni ya ‘Great Strikers International Boxing Promotions’ eyamukansa.

Kiwanuka eyakazibwako erya ‘Killing Machine’ okukola okulangirira kuno kivudde ku bakaama be okulemwa okutuukiriza bye bakkaanyaako ng’ateeka omukono ku ndagaano nabo.

Yakansibwa aba Great Strikers ey’omugaga Sam Buchanan mu January wa 2019 ku ndagaano ya myaka 5 ng’ebadde yaakuggwaako mu January w’omwaka ogujja.

Mu bimu ku byali mu ndagaano Great Strikers yali yaakumusasula ensimbi obukadde 100 mu myaka 5 nga buli mwaka yali waakufuna obukadde 20.

Kiwanuka nga yaakawangula omusipi gwa GBF Heavyweight title mu lulwana lwe olusembyeyo. Ekif-FRED KISEKKA

Kiwanuka nga yaakawangula omusipi gwa GBF Heavyweight title mu lulwana lwe olusembyeyo. Ekif-FRED KISEKKA

Ekirala Great Strikers yalina okumunoonyeza ennwana ez’amaanyi n’okumuyamba okumutunda wamu n’okukuza ekitone kye by'agamba nti tebabikoze.

Wano we yeesuliddemu jjulume n'awera nga bw'agenda okusazaamu endagaano yaabwe anoonye abavujjirizi abapya.

Mu myaka 4 gye yaakabazannyira alwanye ennwana 5 zokka ez’ebikonde ebya bapulofeesono mw'atannakubwamu.

Kiwanuka yaliko ku ttiimu y’eggwanga ey’ebikonde The Bombers wakati wa 2015 ne 2018 era yagiwangulira omudaali gwa zabu mu mizannyo gya East Afrika egya 2018.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});