NIC emezze Prisons n'esitukira mu kikopo kya East Africa Netball Club Championships
May 21, 2023
Kiraabu ya NIC ewangudde empaka za kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club Championships ezibadde ziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

NewVision Reporter
@NewVision
Kiraabu ya NIC ewangudde empaka za kiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Club Championships ezibadde ziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.
NIC okutuuka okweddiza ekikopo kino kiddiridde okumegga bajja baabwe aba Prisons ku ggoolo 49 ku 37.
Abazannyi Ba Nic Nga Basaba
NIC eyingidde omupiira guno nga eyagala kweddiza kikopo kyayo kye yawangula omwaka oguwedde wamu n'okwesasuza Prisons olwokugisuuza ekikopo kya liigi sizoni ewedde. Prisons nga yali yakoma okuwangula ekikopo kino mu 2018 ezze nga eyagala kuwangula kikopo kyakuna.Omuzannyi Racheal Nanyonga N'omupiira
Ekitundu ky'omuzannyo ekisooka kigenze okuwummula nga NIC ekikulembedde ku ggoolo 23 ku 17.Mu kitundu ky'omuzannyo ekyokubiri NIC eyongedde okunyweza olugoba oluzibizi n'oluteebi ate Prisons n'esuula emipiira okukakkana nga NIC eguwangudde ku ggoolo 49 ku 37 okweddiza ekikopo ky’omwaka guno.
NIC kati erina ebikopo bya East Africa 21 ate nga Prisons erina bina.
Mu balenzi WOB ekubye Kampala University okuwangula empaka zino.
Empaka zino zaatandika ngaennaku z’omwezi 13.
Uganda yakiikiriddwa kiraabu ttaano mu mpaka zino omuli ez'abakazi ssatu okuli; NIC, Prisons ne Makindye Weyonje so nga ez'abassajja zaakiikiiriddwa Kampala University ne WOB.
No Comment