Micho asudde Simon Tamale abawagizi ne bava mu mbeera

May 25, 2023

ABAWAGIZI b’omupiira mu ggwanga bavudde mu mbeera ne balangirira omutendesi w’eggwanga Milutin Sredojevic ‘Micho’ obutaba mwenkanya

NewVision Reporter
@NewVision

Abawagizi b’omupiira mu ggwanga bavudde mu mbeera ne balangirira omutendesi w’eggwanga Milutin Sredojevic ‘Micho’ obutaba mwenkanya oluvannyuma lw’okusuula omukwasi wa ggoolo ya Maroons FC Simon Tamale olw’omutindo omulungi gwabaddeko. 

Micho bw'afaanana.

Micho bw'afaanana.

Tamale y’omu ku bakwasi ba ggoolo akyasinze sizoni eno oluvannyuma lw’okwolesa omutindo omulungi bukya sizoba etandika omwaka oguwedde. 

Micho yayise abakwasi ba ggoolo okuli Alionza Nafian (URA FC) ne Joel Mutakubwa owa Gaddafi FC eye Jinja wabula bano bonna tebalina we basingira Tamale olwa ffoomu gy’abaddeko. 

Tamale ayambye ttiimu ye sizoni eno nga bakwata kifo kya 5 ku bubonero 40, Alionzi akwata kyamukaaga ku bubonero 39 so nga Mutakubwa owa Gaddafi bakwata kya 11 n’obubonero 31. 

Tamale gwe baasudde.

Tamale gwe baasudde.

Ono yaakazannya emipiira gya liigi 21 sizoni eno bukya yeegatta ku Maroons ng’ava ku Bright Stars ng’alina Clean sheet 12.

Asinga bakkipa bonna aba liigi n’okuteebwamu ggoolo 21. Tamale y’akyasinze okuwangula engule y’omuzannyi akyasinze okukwata ggoolo emirundi musanvu 7 sizoni eno. 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});