Bugema eyimbizza URA FC endubaale

May 27, 2023

MU kaweefube wa yunivasite y’e Bugema okwongera okwenyweza nga beetegekera sizoni empya eya Pepsi University Football League, batunuzza ebikalu URA FC eya Star Times Uganda Premier League, ffirimbi y'ebatawuluzza.

NewVision Reporter
@NewVision

MU kaweefube wa yunivasite y’e Bugema okwongera okwenyweza nga beetegekera sizoni empya eya Pepsi University Football League, batunuzza ebikalu URA FC eya Star Times Uganda Premier League, ffirimbi y'ebatawuluzza.

Gwabadde mupiira gwa mukwano ku yunivasite e Bugema nga URA ewangula ku ggoolo (1-0) gye y’aggye mu mannyo g’empisi ng’eyita mu Bruno Bunyaga oluvannyuma lwa Bugema okwefuga eddakiika zonna 90 nga URA yeetaasa bwetaasa.

Bakira omutendesi wa URA Sam Timbe ali kubunkenke, yakoze enkyukakyuka 6 bwe yaggyeeyo, Viane Ssekajjugo, Bruno Bunyaga, Alfrd Leku, ggoolokippa Yusuf Wasswa ne Hassan Kalega n’abasikiza James Beggisa Penza, Ibrahim Dada, Said Kyeyune, Joshua Leti, Anderbat Ssande ne Hannington Ssebwalunnyo.

Meddie Nyanzi atendeka Bugema yakoze enkyukakyuka 4 bwe yaggyeeyo Charles Kagoda, Isaac Ssenyunja, Isaac Musiima amanyiddwa nga Messi ne Eric Ssawa n’abasikiza Hussein Mundeli, Fred Wamanyi, Sulaiman Ssentongo ne Sulaimani Ssembatya.

Eno yabadde nsiike ya 11 ey’omukwano Bugema gye yaakazannya bukya omwaka guno gutandika; bawanguddeko bbiri zokka bwe baakuba Nakifuma United (2-1) ne Cavendish University (5-1).

Bakoze amaliri ga mirundi esatu (1-1) ne Tooro United FC, (1-1) ne URA FC ate ne bakola (3-3) ne ttiimu ya Uganda Wild Life Authority. 

Bakubiddwa emirundi 6 okuli; Maroons (3-0), Vipers SC (2-1), Gaddafi FC (3-0), KCCA FC (2-0), SC Villa (1-0) ne URA FC (1-0) mu gw’okudding’ana.

“Tetugenda kukoowa kuzannya mipiira gya mukwano okutuusa liigi ya yunivasite ng’etandise, kati ntunuulidde okuzannyamu n’ Essaza lya Bulemeezi, ttiimu ya ‘Super’ endala emu wamu ne Booma FC eya Big League,” Nyanzi bwe yannyonnyodde.

Sizoni y’omwaka guno Bugema baakuvuganyiza mu kibinja A omuli; Kabaale University, Uganda Martyrs Nkozi abalina ekikopo kya sizoni ewedde ne University of Kisubi (Unik).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});