Police ne Vipers bali butoola mu fayinolo ya Uganda Cup
Jun 02, 2023
EKIBANYI kyakugwa n’amenvu e Lira ku kisaawe kya Akii Bua Stadium nga Police ezannyira mu Big League ettunka ne bannantameggwa ba liigi aba Vipers mu mupiira oguliko n'obugombe.

NewVision Reporter
@NewVision
Lwamukaaga 9:00
Police FC- Vipers e Lira
EKIBANYI kyakugwa n’amenvu e Lira ku kisaawe kya Akii Bua Stadium nga Police ezannyira mu Big League ettunka ne bannantameggwa ba liigi aba Vipers mu mupiira oguliko n'obugombe.
Vipers eyingira ensiike eno ng’eyagala kweggyako kikwa ky’emyaka 16 ng’erwana okufuna 'obwassaalongo’ nga ttiimu endala okuli; SC Villa, Express ne KCCA.
Omwaka oguwedde, baalina omukisa okutuuka ku buwanguzi buno kyokka ne bakoma ku munaabo kuba BUL yabakuba ku fayinolo ya Stanbic Uganda Cup 3-1 nga baali bamaze okuwangula liigi nga bwe guli omwaka guno.
Mu kikopo kino, ttiimu zombi zaasemba kusisinkana mu 2021 Vipers n’ewangula (2-0) e Njeru ku semi wabula, Angelo Lonyesi, atendeka Police agamba nti nabo bakimye kikopo okwenazaako ennaku.
Richard Wasswa omumyuka wa Alex Isabirye ku butendesi bwa Vipers, ku Lwokubiri yategeezezza nga bwe balina ennyonta ey’okusitukira mu kikopo eky’okubiri wabula omupiira guno bagenda kuguzannya n’obumanyirivu olw’ensonga nti Police nayo tetudde kuba yeetegese bulungi.
No Comment