Wasswa Bbosa asuddewo Gaddafi FC, aba Express batandise okumuperereza
Jun 22, 2023
ABADDE omutendesi wa Gaddafi FC mu liigi y’eggwanga eya ‘Star Times Uganda Premier League’ Wasswa Bbosa asuddewo ttawulo wakati nga ttiimu yeetegekera sizoni empya 2023/2024.

NewVision Reporter
@NewVision
ABADDE omutendesi wa Gaddafi FC mu liigi y’eggwanga eya ‘Star Times Uganda Premier League’ Wasswa Bbosa asuddewo ttawulo wakati nga ttiimu yeetegekera sizoni empya 2023/2024.
On yeegatta ku Gaddafi wakati wa sizoni ya 2020/2021 wabula yakakasibwa ku ntandikwa ya sizoni ewedde gye yabayambye okuwona okusalwako okuddayo mu Big League.
Baamalidde mu kifo kya 11 n’obubonero 31 mu mipiira 30 gye baazannye wabula ono abadde asuubirwa okulinnyisa omutindo sizoni eddako olw’obumanyirivu bw’alina mu liigi eno.
Bbosa agamba nti ebbanga lyonna ly’amaze ne Gaddafi FC abadde akolera bitole bya mmere, embeera ebadde yaakuguminkiriza na kukuuma linnya okutuusa lw’asazeewo okusuulawo omulimu.
“Kati ntunuulidde kuddayo kusoma nnyongere ku mpapula z’obutendesi bwange, wabula ssinga nfuna ttiimu endala ne tukkiriziganya ku bye njagala, nja kuggyeegattako nga bwe ninda kkoosi ya February omwaka ogujja,” Bbosa bwe yategeezezza.
Agali mu nkuubo galaga nti Express FC emu ku ttiimu z'akyasinze okukolerako ebyafaayo, emutunuulidde n'eriiso ejjogi, eyagala akomewo abatendeke sizoni ya 2023/2024.
Lt. Edrine Ochieng pulezidenti wa ttiimu yakakasizza okugenda kwa Bbosa n’ategeeza nga kati bwe batunuulidde omutendesi asobola okuzimba emiti emito. “Tulina pulojekiti ya kuzimba ttiimu eneevuganaya okumala emyaka egisukka mw’esatu egy’omuddiring’anwa, omutendesi asobola okukola ekyo gwe tutunuulidde,” Lt. Ocheng bwe yategeezezza.
No Comment