Kyampiyoni Vipers erinze Arua Hills ku bitaala

Sep 21, 2023

BAKYAMPIYONI ba liigi aba Vipers bakomawo leero mu nsiike okuttunka ne Arua Hills nga batunuulide ebintu 3 okubawa wiini.

NewVision Reporter
@NewVision

Leero mu StarTimes Uganda Premier League (ssaawa 1:00 ekiro);

Vipers – Arua Hill, Kitende

BAKYAMPIYONI ba liigi aba Vipers bakomawo leero mu nsiike okuttunka ne Arua Hills nga batunuulide ebintu 3 okubawa wiini.

Ekisooka, bukya Arua Hills eyingira liigi tekubanga ku Vipers e Kitende era bannyinimu baakulwana okukuuma likodi eno.

Arua Hills ya sizoni eno yalabise nga nnafu olw’okuviibwako abazannyi 7, era singa ekuba Vipers, kijja kuswaza bannyinimu.

Ekirala ekiwa Vipers amaanyi kya kuba nti guli ku bitaala, Arua Hills by'etemanyidde sso nga Vipers ebizannyiddeko enfunda eziwera. Mu gwasoose, Arua Hills yakubiddwa Busoga (1-0) ekyayongedde okulaga obuzibu bwe balimu.

Ekyokusatu, Vipers balina abazannyi ab'obumanyirivu abayaayaana okuwangula naddala ku ttiimu ezitali bulungi.

Mu nsiike eno, abazannyi 4 okuli, Livingstone Mulondo, Hillary Mukundane, Patrick Mbowa, Fumador Asiwome ne Fabien Mutombora tebasuubirwa kuzannya olw’obuvune.

Omutendesi wa Vipers Omubrazil, Leonard Neiva naye ali ku kigezo okukola obulungi awangule liigi okutaasa omulimu gwe. Vipers yawanduddwa mu za CAF Champions League era ekikubagizo kyabwe kya kweddiza liigi.

VIPERS EKYABULAMU;

Yagguddewo na kukuba Gadaffi ku bugenyi (2-1) kyokka enzannya yaayo teyamatizza bulungi.

Milton Karisa ne Mohamed Ekbad be baateebedde Vipers kyokka baagumazeeko beetaasa olwa bannyinimu okubassaako akazito ne guggwa ggoolo (2-1).

Wabula Neiva agamba nti balina okuwangula Arua Hills kuba beetaaga okulaga nti bamalirivu ku kikopo era asabye abawagizi okuwa ttiimu obuwagizi.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});