Aba Bulemeezi bamezze Buweekula omugagga n'abayiwamu embuzi 4 bawuutemu ssupu
Sep 26, 2023
Lyabadde ssanyu jjeerere, kulya, kunywa na kusanyuka ttiimu ya Bulemeezi oluvannyuma lw'okukuba Buweekula ggoolo 2 ku 1 mu maka g'omugagga waabwe Frank Mutalaga agasangibwa e Mpanga Kiwoko Luweero.

NewVision Reporter
@NewVision
Lyabadde ssanyu jjeerere, kulya, kunywa na kusanyuka ttiimu ya Bulemeezi oluvannyuma lw'okukuba Buweekula ggoolo 2 ku 1 mu maka g'omugagga waabwe Frank Mutalaga agasangibwa e Mpanga Kiwoko Luweero.
Wiiki ewedde ttimu eno bwe yali ekyaliddeko omugagga waabwe yabasaba bakube Buweekula naye ajja kubasanyusa.
Olw'okutikiriza kye yabasaba yazzeemu n'abaanirizza mu makaage n'ekijjulo okwo kwe yatadde n'okubawa embuzi nnya bawuutemu ssupu abasobozese okukuba Mawokota ku Ssande.
Basaze n'entotto butya bwe bagenda okukuba Mawokota era n'asaba obutebulankanya era n'abongeza n'omusala nga abazannyi bonna bagenze okuva mu kifo kino nga basanyufu byansusso mu lubuto ne mu nsawo .
Abazannyi Ba Bulemeezi Nga Balya Ekimere
Ate n'abasuubiza singa bakuba Mawokota waakubanyusa okusingawo ng'omusaala gwabwe era agenda gukubisaamu emirundi ebiri.
Wano ssentebe wa Bulemeezi FC Masaza Cup, Tadeo Wasswa we yasiimidde omugagga Mutalaga n'agamba ekituufu Bulemeezi yali etubidde era singa teyabadduukirir tebamanyi kye bali bazzaako.
Wasswa wano we yasabidde abasambi okwongeramu amaanyi n'okubeera abagumiikiriza era n'asubiza omugagga nti ku mulundi guno ekikopo kidda Bulemeezi.
No Comment