Hassan Wasswa wa IUEA alozezza ku bukambye bwa Pepsi University Football League

Sep 30, 2023

EYALIKO kapiteeni era emmunyeenye ya Cranes Hassan Wasswa Mawanda atandise okuloza ku bukambwe bwa liigi ya yunivasite ng’omutendesi wa International University of East Africa (IUEA) ttiimu ye bw’ekubiddwa St. Lawrence University (SLAU) ggoolo (3-1).

NewVision Reporter
@NewVision

Eggulo mu liigi ya yunivasite

IUEA 1-3 SLAU

Leero (Lwamukaaga)

Ndejje Univ – Makerere, Luweero

EYALIKO kapiteeni era emmunyeenye ya Cranes Hassan Wasswa Mawanda atandise okuloza ku bukambwe bwa liigi ya yunivasite ng’omutendesi wa International University of East Africa (IUEA) ttiimu ye bw’ekubiddwa St. Lawrence University (SLAU) ggoolo (3-1).

Eggulo IUEA lwe yakyazizza omupiira gwayo ogusooka awaka ku kisaawe e Lukuli wabula gwabadde gwakubiri mu gye baakazannya mu Pepsi University Football League sizoni eno okuva mu kibinja E ekikulembeddwa SLAU ku bubonero 6, Nkumba 3 ate IUEA ne Gulu balina kabonero buli omu.

Mawanda yagassegasse nnotisi mu kitundu ekisooka ne kiggwaako nga bamuteebye ggoolo emu yokka eya kapiteeni wa SLAU David Balondemu, ng’ekitundu ekyokubiri kyakaddamu, IUEA yalwanye n’efuna eyeekyenkanyi ng’eyita mu kapiteeni waayo Marker Bino wabula yabadde ng’akubye ejjinja mu njuki anti SLAU yabatabukidde, ffirimbi esembayo ye yabataasizza nga Innocent Matenge ne Peter Kaye babongedde ggoolo bbiri.

Mawanda y’omu ku ttiimu eyakomyawo Cranes mu AFCON oluvannyuma lw’emyako 38 wabula okuva lwe yawummula okuzannyira eggwanga, abazannyi bangi nabo ne baabulira Cranes okuli ne Denis Masinde Onyango n’abalala era okuva kw’olwo ttiimu y’eggwanga teyasigala kye kimu.

IUEA omupiira ogwasooka yakola maliri (1-1) ne yunivasite y’e Gulu. “Ttiimu gye nina nkyagizimba naye ewa essuubi era tukyalina esuubi nti tusobola okuva mu kibinja kino, tusigazza emipiira ena (4) ate tusobola okugiwangula gyonna,” Mawanda bwe yategeezezza.

 

Davis Ssozi Nnono atendeka SLAU yatandika na kuwangula Nkumba (3-1) ekimukuumidde ku ntikko y’ekibinja kino wabula wadde baawangudde agamba nti ttiimu ye ekyabulamu naddala ekisenge kiyuuga.

“Nkyetaaga okukyusa ebintu bingi mu ttiimu eno era nsaba abazannyi bange baleme kuddiriza muliro lwa wiini ebbiri zino wabula bazannye ng’abatawangulangako ng’eno nange bwe nnyongera okuwawula ebibulamu,” Nnono bwe yategeezezza.

Leero Lwamukaaga (September 30, 2023), Makerere bakyampiyoni ba liigi ya yunivasite 2012 balumbye Ndejje University mu disitulikiti y’e Luweero nga banoonya wiini eyookubiri ey’omuddiring’anwa sizoni eno okutangaaza emikisa gy’okuva mu kibinja C nga bakikulembedde.

Wiiki ewedde baatandika bulungi sizoni bwe baakuba Kyambogo (1-0) mu nsiike eyaggulawo ekibinja ate Ndejje yatandika n’amaliri ga (0-0) bwe yakyalira Muni University nga kati nanoonya wiini esooka ewaka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});