Ab'emifumbi beebugira za East Africa
Oct 02, 2023
Bannayuganda abali mu musanvu bebamaze okukakasa okwetaba mu mpaka z’okuzimbya emifumbi eza ez'obuvanjuba bwa Africa eza Mr and Miss East Africa Natural building championships ez'okubeera mu Eldoret ekya Kenya ku lwomukaaga lwa wiiki eno.

NewVision Reporter
@NewVision
Bannayuganda abali mu musanvu bebamaze okukakasa okwetaba mu mpaka z’okuzimbya emifumbi eza ez'obuvanjuba bwa Africa eza Mr and Miss East Africa Natural building championships ez'okubeera mu Eldoret ekya Kenya ku lwomukaaga lwa wiiki eno.
Kyampiyoni w’okuvimbya emifumbi mu ggwanga Godfrey Lubega yoomu kwabo abagenda mu Eldoret nga yatandise dda okwepikira empaka zino .
Okulaba nga buli kimu kimutambulira bulungi, ono okutendekebwa kwa kaasa meeme akukolera ku ggiimu ya ISK esangibwa mu Ndeeba nga ayambibwako omutendesiwe Kenny Ssekiranda.
Lubega mugumu nti okutendebwa kwafuna kwakumuyamba okutekawo okuvuganya okwamanyi ne bannaKenya.
“Njagala okutegeeza bannayuganda nti ngenda mu mpaka zino na kigendererwa kimu kyokka kyakuwangula. Ndabula ba nnakenya nti Mr. Uganda njiza era banerinde kuba omuddaali mpulira na guwangudde dda,” Lubega bwe yategezeza.
Lubega nga yalina engule y’eggwanga mukuzimbya emifumbi agenda kuba avuganyiza mu mutendera gwa kilo 80-85 ogwa light heavy weight.
Omutendesi we Kenny SSekiranda ategeezezza nti omuzannyi we ali mu mbeera nnungi nga kati bakola kutendekebwa kusembayo nga tebanasitula kwolekera ggwanga lya Kenya.
“Kati kyetukolako ssaawa eno kwekugolala ebinya Lubega agende okutuuka mu mpaka zino nga talina masavu gonna kuba bannaKenya baagenda okuvuganya nabo basajja bakalu nga nabwekityo naye yeetaga okuba nga omubiri gwe mukalu nga bo,” Ssekiranda bwe yatangaziza.
Empaka zino zakuyaamba abazimbi b’emifumbi bannayuganda okugerageranya omutindo gwabwe ne banna Kenya.
Nga oggyeko Godfrey Lubega, bannayuganda abalala abamazze okukaksa okwetaba mu mpaka zino kuliko; Abdul Nasser Mwanje, Hussein Kato, Shamim Mukyala, Aksam Kiseka, Safalu Tamale.
Zo empaka za empaka empaka za Mr and Miss East Africa natural body building Championship zakubeera mu Eldoret ekya Kenya nga ennaku z’omwezi musanvu omwezi guno
No Comment