Uganda Cranes ekutukidde mu maanyi ng'ekubwa Guinea (2-1) mu za World Cup

Nov 17, 2023

UGANDA Cranes ekutukidde mu maanyi mu butikitiki obusembayo bw’ekubiddwa ggoolo egisubizza waakiri akabonero nga Guinea egimegga (2-1) mu z’okusunsulamu amawanga ga Africa agalwana okukiika mu World Cup 2026.

NewVision Reporter
@NewVision

2026 FIFA World Cup Qualifiers

Guinea 2-1 Uganda

UGANDA Cranes ekutukidde mu maanyi mu butikitiki obusembayo bw’ekubiddwa ggoolo egisubizza waakiri akabonero nga Guinea egimegga (2-1) mu z’okusunsulamu amawanga ga Africa agalwana okukiika mu World Cup 2026.

Ggoolo ya Seydouba Cisse eyavudde ku katebe ye yakutudde Cranes mu ddakiika ennya (4) ezaabadde zongeddwa mu 90 bwe yakubye ‘freekick’ eyayise ku ggoolokippa wa Uganda Salim Jamal era wano ddiifiri teyalonzezza n’akommonta eddenge evvannyuma.

Guinea ye yasoose okuteeba mu ddakiika 10 ezasoose ng’eyita mu Aguibou Camara wabula Uganda yakomyewo mu kibalo Fahad Bayo bwe yagifunidde eyekyenkanyi mu ddakiika 30 era omupiira n’eguzibira bulungi wabula mu butikitiki obusemba Cisse n’abakutula (2-1).

Gwabadde mupiira gwa ttiimu zombi ogusooka mu kibinja G omuli; Algeria, Somalia, Botswana ne Mozambique. Gwazannyiddwa eggulo (November 17, 2023) ku kisaawe kya Stade Du Municipal mu kibuga Berkane ekya Morocco.

Era guno gwe mupiira ogwayanirizza omutendesi wa Cranes omuggya Paul Put gwe yasookeddeko bukya ayanjulwa mu butongole wiiki bbiri emabega ng’adda mu kifo kya Sredojevic Milutin eyakwatibwa ku nkoona gye buvuddeko.

Uganda ekomawo mu nsiike ku Tuesday ng’ezannya Somalia mu nsiike eyookubiri. Somalia yagguddewo na kukubwa Algeria (3-1) ng’enoonya wiini esooka nga ne Uganda bw’egyetaaga.

Abaatandise

Salim Omar Magoola, Kenneth Ssemakula, Aziz Kayondo, Bevis Mugabi, Halid Lwaliwa, Khalid Aucho, Bobosi Byaruhanga, Travis Mutyaba, Fahad Bayo, Milton Karisa ne Rogers Mato.

Oluvannyuma; Timothy Awany yayingiziddwa mu kya Bobosi Byaruhanga, Yunus Ssentamu n’asikira Milton Karisa, Bright Anukan mu kya Travis Mutyaba ate Richard Basangwa n’adda mu kya Fahad Bayo.

Ebyafaayo bya Uganda ne Guinea

2014 Guinea 2-0 Uganda (AFCON)

2014 Uganda 2-0 Guinea (AFCON)

2001 Giunea 0-0 Uganda (AFCON)

2000 Uganda 3-1 Guinea (AFCON)

2000 Uganda 3-0 Guinea (World Cup Qualifiers)

2000 Uganda 4-4 Guinea (World Cup Qualifiers)

1976 Guinea 2-1 Uganda (AFCON)

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});