Chuni azaawukidde mu mupiira gw'abaana

Jun 25, 2024

ABAZANNYI b'Omupiira abato basabiddwa obutatunuulira ssente nga bazimba ebitone byabwe wabula amaanyi bagasse mu kutendekebwa n’okunnyikiza obukodyo abatendesi bwe babasigamu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAZANNYI b'Omupiira abato basabiddwa obutatunuulira ssente nga bazimba ebitone byabwe wabula amaanyi bagasse mu kutendekebwa n’okunnyikiza obukodyo abatendesi bwe babasigamu.

Amagezi gaabaweereddwa Yusuf Kyeyune ‘Chuni’, eyakulirako ebyekikugu mu  SC Villa, ssentebe wa w’omupiira mu ligyoni ya Kampala, n’obuwi bw’amagezi mu FUFA y’omugenzi Denis Obua. Yabadde ku masomero ga Caring Hearts e Kaggala mu Wakiso ku Lwokuna mu mupiira gwa liigi y’abayizi baalyo eyitibwa ‘Caring Hearts Premier League’.

LMan City ne Arsenal baalemaganye ggoolo 3-3 nga Pasita Paul Musisi, nnannyini masomero gano agenderera kufuna bitone ebinaayongera okuliikiriza kiraabu za ‘Super’ wamu ne Uganda Cranes. Pasita Musisi eyaliko ssita wa Express mu gy’e 70 ne 80, ye yatandikawo ekibiina ekigatta abaagusambako ekya Former Footballers Initiative (FFI) kati ekikulirwa John Ntensibe

Chuni ng'ali n'abaana

Chuni ng'ali n'abaana

Chuni yagambye nti Omupiira muzannyo gwa bugumiikiriza ng’omuntu ayagala ennyo ssente tayinza kukuza kitone. Yabalabudde ne ku masanyu nti abasambi okumalira obudde mu bbaala n’okuyingirira ebyobukaba bibalemesa okutuuka ku mutindo.

Abaaguzannyako abalala abaabaddewo ye; Jamil Kasirye eyali Goal Keeper wa Cranes mu AFCON ya 1978, Simon Omba ‘Kawunga agaana atya’ (Express/Coffee), Obadia Ssemakula ‘Musanvu w’Eggwanga’ (Coffee SC), Godfrey Mukasa Shafic (Nytil/City Cubs), Edrisa Nyombi ‘One Nila’ (Lint), Tom Musoke (Airlines/Villa), Godfrey Nyola (Nytil/Express), Ntensibe (Express), n'abalala

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});