Gulf FC efunye kavvu ne pikipiki mu mpaka za Museveni
Dec 16, 2024
LYABADDE bbinu nga Gulf FC ey’e Mutungo ekwasibwa pikipiki empya, obukadde 2 n’emidaali oluvannyuma lw’okusitukira mu kikopo kya ONC Sport Gala ekyategekeddwa Hajjat Hadijah Namyalo ku Lwokutaano e Lugogo.

NewVision Reporter
@NewVision
LYABADDE bbinu nga Gulf FC ey’e Mutungo ekwasibwa pikipiki empya, obukadde 2 n’emidaali oluvannyuma lw’okusitukira mu kikopo kya ONC Sport Gala ekyategekeddwa Hajjat Hadijah Namyalo ku Lwokutaano e Lugogo.
Kimwanyi eyakubiddwa Gulf (2-0) yafunye pikipiki, ekikopo, emidaali ne 1,000,000/-.
Empaka zeetabiddwaamu ttiimu 64, okuva mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo omwabadde amagye ne poliisi.
Security 19th -Intake eyakubye Butabika (2-0) mu gw’okulwanira ekyokusatu yafunye pikipiki n’ekikopo, emidaali ssaako 500,000/- ate Butabika n’efuna 500,000/-, emidaali n’omupiira.
Ntale Sick Care eyasinze okwambalaobulungi yafunye pikipiki n’emidaali ate Ntungasaze eyabadde n’abazannyi abaasinze okulaga ekitone yafunye ekikopo
n’emidaali.
Gaza FC okuva mu Ghetto ne KCCA Corporate FC baafunye ente olw’empisa ennungi. KCCA baagiwadde n’emidaali. Guster Mwebaze eyakulidde okutegeka ekikopo yagambye nti kigenda kutwalibwa mu bitundu by’eggwanga ebirala omwaka
ogujja okuyamba ku FUFA okunoonya ebitone.
Namyalo yagambye nti okutegeka empaka zino baagala kuddiza ku bazzukulu, ba Museveni (abavubuka).
Namyalo yagambye nti abayimbi ne bannakatemba abadde abateekamu ssente kwe kusalawo ne bannabyamizanyo okubategekera ekikopo ng’ali wamu ne FUFA era yamusindikira Hassan Wasswa okubayambako.
Minista wa Kampala, Hajati Minsa Kabanda, yasiimye Namyalo okutegeka empaka zino
ezigatta abavubuka mu bitundu bya Kampala.
No Comment