KCCA tugitwala mu bbaagiro - NEC

Feb 10, 2025

ABAKUNGU ba KCCA bwe bawulira ebigambo by’omutendesi wa NEC,bwe bataba bagumu balina okutyamu.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKUNGU ba KCCA bwe bawulira ebigambo by’omutendesi wa NEC,
bwe bataba bagumu balina okutyamu.

Ttiimu zino zittunka Lwakuna mu guggulawo ekitundu kya liigi ekyokubiri mu nsiike esuubirwa okuba eyookufa n’okuwona. Omutendesi wa NEC, Hussein Mbalangu yategeezezza nti bw’eba ffirimu mugenda kulaba kitundu kyakubiri.
“Mu gwasooka ffe ‘abapangisa ‘twakuba mukama waffe ewuwe mu Phillip Omondi Stadium, kati batulinde mu bbaagiro ‘Lugogo Slaughterhouse’ bategeere NEC
kye ki”, Mbalangu bwe yaweze.
Twetegese bulungi era nsaba abawagizi bayiike e Lugogo balabe omupiira
gwa sizoni.
Mu ntandikwa ya sizoni eno, Mbalangu yategeezza ga bwe batagenda kukubwa mupiira nga bali Lugogo n’akituukiriza mu kitundu kisooka mwe yakubira abanene okuli; Vipers (3-1), KCC (1-0) ne Villa (2-1). E Lugogo, NEC yakola maliri ga UPDF gokka. Ekitundu ekisooka NEC yakimalako yaakubiri ku bubonero 48 nga Vipers ekulembedde erina 49

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});