Nkumba ekikopo ekitadde!
Mar 26, 2025
UGANDA Martyrs University (UMU) Nkozi eggulo yafuuse ttiimu esoose okukakasibwa ku semi za 'Pepsi University Football League' sizoni eno.

NewVision Reporter
@NewVision
UGANDA Martyrs University (UMU) Nkozi eggulo yafuuse ttiimu esoose okukakasibwa ku semi za 'Pepsi University Football League' sizoni eno.
Yaggyeemu bakyampiyoni aba Nkumba bwe baalemaganye (2-2) e Nkozi. Yayitiddemu ku mugatte gwa ggoolo 4-3 kuba ogwasooka e Nkumba yawangula (2-1).
Mu nsiike eyabadde ku kisaawe e Nkozi mu disitulikiti y’e Mpigi eggulo, Patrick Mutebi ne Sunny Kaija baateebedde Uganda Martyrs ate Abbey Kavuma ne Bruhan Kasumba ne banyweza eza Nkumba.
“Kino kye tubadde tulina okukola era kati batulinde ku fayinolo kuba okuggyamu kyampiyoni oba wa maanyi,” Eric Kisuze atendeka Uganda Martyrs bwe yaweze.
Leero, Ndejje University ekyazizza St. Lawrence University (SLAU) mu Luweero. Ogwasooka e Kavule mu Mpigi, SLAU yawangula (2- 1) nga Ndejje enoonya wiini ya 2-0 okwesogga semi.
No Comment