Ebyemizannyo

Uganda etandise bubi mu mupiira gw'abamuzibe

Uganda etandise bubi mu mpaka za Africa ez'omupiira gwabamuzibe ezaggyidwako akawuuwo Olunaku lw'eggulo ku Hams stadium e Nakivubo.

Abazannya omupiira gw'abamuzibe nga battunka
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Uganda etandise bubi mu mpaka za Africa ez'omupiira gwabamuzibe ezaggyidwako akawuuwo Olunaku lw'eggulo ku Hams stadium e Nakivubo.
Mu mupiira ogwaggudewo South Sudan yakubye Uganda goolo 3-0 nga zonna zaateebeddwa mu kitundu ekisooka.
Muyizzi tasubwa wa south Sudan  Yona Sabri yateebye goolo bbiri ate eyokusatu neteebwa Martin Lado.

Abazannyi nga battunka mu mupiira gw'abamuzibe

Abazannyi nga battunka mu mupiira gw'abamuzibe


Muyizzi kitundu ekyokubiri Uganda yakozeemu enkyukakyuka ezaamangu okusobola okunoknya goolo wabula ekisenge Kya South Sudan nga kigumu.
Mu mupiira hazes olweggulo South Sudan yakubye Zimbabwe 2-0 neyesogga oluzannya olwakamalirizo olugenda okubaayo enkya.
Amawanga 3 gegeetabye mu zomwaka guno yadde nga Amawanga munana Gerald bakakasizza okuzeetabamu.
President wekibiina ekiddukanya emizannyo gyabaliko obulemu mu ggwanga ekya national Paralympic committee Hon Mpindi Bumaali yabadde mwenyamivu olwamawanga agaalemereddwa okuleeta tiimu olwebbula lyensimbi.

Abazannyi nga bali mu kifaananyi eky'awamu

Abazannyi nga bali mu kifaananyi eky'awamu


Kino yakitadde ku nkola zamawanga ga Africa ageesuulirayo ogwa naggamba bwekituuka ku mizannyo gyabaliko obulemu.
Wabula Mpindi wano era yalabyewo omukisa Uganda gwesobola okukozesa okugenda mu kibinja ekisooka ku lukalu lwa Africa.
Empaka zaakukomekkerezebwa Olunaku lwenkya no luzannya olwakamalirizo olwo emidaali nebikopo bigabibwe.
Uganda ekozesezza empaka zino platelets empaka zabaliko obulemu eza Paralympic ezigenda okubeera mu America mu 2028.