Ebyemizannyo

Aba Ghetto beetisse eza Chess kati beetegekera za Africa

Aba Ghetto beetisse eza Chess kati beetegekera za Africa 

Bamusaayimuto okuva mu Ghetto yekamwokya abaawangudde mu mitendera egyenjawulo nga bali nabatendesi baabwe
By: Julius Kafuluma, Journalists @New Vision

Wampeewo open chess championship

Mu bawala

1.       Juliet Asaba           7
2.       Suzan Namukobe 5.5
3.       Suhana Anil Yadav 5

Mu balenzi

1.       Ronald Wabwire   6
2.       Alvin Muhirwa      6
3.       Nsubuga Haruna   6

Mu bavubuka

1.       Daniel Odokonyero    7
2.       Treasure Muwanguzi 6
3.       Mukisa Clark Kent       6

Bamusaayimuto ba Uganda batandise okwetegekera empaka za Africa eza Africa Youth Chess Championships ezigenda okubeera mu Uganda okuva nga 14 okutuusa 20 mu May. 

Abamu ku bavubuka bano beetabye mu mpaka za Wampeewo Open Chess Championships ezaabadde ku ssomero lya Wampewo Ntakke SS ezaabadde ezokwegezaamu. 

Akulira omuzannyo gwa chess mu Buganda Moses Nkonge nga akwasa Juliet Asaba ekirabo oluvannyuma lwokuwangula mu mutendera gwabawala

Akulira omuzannyo gwa chess mu Buganda Moses Nkonge nga akwasa Juliet Asaba ekirabo oluvannyuma lwokuwangula mu mutendera gwabawala

Empaka zino ezaabadde ezomulundi ogwokutaano zetabiddwamu abavubuka 130 nga beetabye mu mitendera omwabadde ogwa Juniors, Open n’ogwabakyala.

Mu mutendera gwabavubuka Daniel Odokonyero omu ku baakiikirira Uganda mu mpak za Africa Youth Chess Championships ezaali e Zimbabwe omwaka oguwedde yeyaziwangudde oluvannyuma lwokuwangula emizanyo gye gyonna omusanvu namalako n’obubonero musanvu nga takubiddwamu. Odokonyero yaddiriddwa Treasure Muwanguzi ne Mukisa Clark Trent abaasibaganye mu kyokubiri ku bubonero mukaaga. 

Juliet Asaba ali ku daala lya woman candidate master yeyetisse omutendera gwabawala nga ono naye yawangudde n’obubonero musanvu mu mizannyo musanvu gyeyazannye. Asaba yaddiriddwa Suzan Namukobe mu kyokubiri n’obubonero 5.5 ate Suhana Anil Yadav nakwata kyakusatu n’obubonero butaano. 

Omutendera gwabasajja gwegwasinzeemu okuvuganya okwamaanyi nga abasajja basatu baasibaganye ku bubonero mukaaga. 

Wabula oluvannyuma lwokwekeneenya engeri buli omu gyeyawanguddemu Ronald Wabwire yamalirizza yasinze okuwangulira waggulu nga yaddiriddwa Alvin Muhiirwa mu kyokubiri ate Fide Master Haruna Nsubuga nakwata ekifo kyakusatu. 

Abayizi ba Wampewo Ntake nga bajaganya okuwangula ekirabo kyessomero eryasinze

Abayizi ba Wampewo Ntake nga bajaganya okuwangula ekirabo kyessomero eryasinze

Wabwire ne Muhiirwa beebamu ku bavubuka abazanyira mu kiraabu ya KTLCA eya ghetto esangibwa e Kamwokya era nga bazanyira ne ku tiimu yeggwanga eyabamusaayimuto abatanaweza myaka 14. 

Ababiri bano tebaalabizza Nsubuga ku njuba yadde nga yabadde abasingako nemunsegeka zabazanyi ba chess mu nsi yonna kiyite rankings. 

Abawanguzi baaweereddwa ebirabo ebyenjawulo omwabadde emidaali, ebikopo, emizindaalo ne kompyuta ekika kya laptops wamu n’ensimbi enkalu. 

Calvin Ntumwa omutegesi w’empaka zino yatenderezza abavubuka bamusaayimuto olwokuvuganya okwamaanyi kwebaataddewo nebatuuka n’okukuba ababasingako ku myaka. Ntumwa yategezezza nti empaka zino zaakuyamba abavubuka bano nga beetegekera empaka zamassomero eza father grimes saako n’empaka za Africa ezabavubuka ziyite Africa youth chess championships Uganda zeegenda okutegeka mu mwezi gwokutaano omwaka guno.