OMUVUZI we mmotoka z’empaka Hassan Alwi ne Musa Nsubuga amusomera maapu be balondeddwa ku muzannyi bwa March mu muzannyo guno ne batwaala ekirabo kya Fortebet Real Stars Award.
Ekirabo kibakwasiddwa Reste Mbatudde owa kkampuni ya Fortebet ku mukolo ogubadde ku Nanjing Restaurant e Kololo.
Ono okuwangula basinzidde ku kuwangula mpaka za KCB Pearl of Africa Rally ez'abumbujjidde e Mbale mwe yawangulidde ne Oscar Ntambi eyawangudde ekibinja eky'okubiri mu mpaka z’ensi yonna eza WRC Safari Rally ezaabadde e Kenya.
Ekifo kyakuvuganyizaako ne Moses Lumala eyakomyewo mu mpaka oluvannyuma lw’emyaka 23 nga teyeetabaamu wabula n’akwata ekyokubiri e Mbale.
“Nkomyewo okuvuganya wabula nga emirimu gimmalawo. Ekirungi nti tekinologiya yeeyongedde mu muzannyo guno nga kati okubbira mu kugaba obubonero kukendedde,” bwe yategeezezza.
Abategesi b’ebirabo bono baalonze emizannyo ena okuli mmotoka z’empaka, emisinde, omupiira gw’abakazi n’ebikonde.
Mu misinde, Jakob Kiplimo ye yanwedde mu banne akendo bwe yawangudde emisinde gya EDB Lisbon Half Marathon nga March 8 gye yaddukidde eddakiika 57:20 era n’ateekawo likoda y’ensi yonna empya okumenyawo ebaddewo ey’eddakiika 57:30 eyassibwawo omudduwi wa Ethiopia Yomif Kejelcha mu 2024.
Ono ab’ekibiina ky’emisinde eky’ensi yonna ekya World Athletics baabadde baakamuggyako likoda y’ensi yonna emu misinde gye gimu gye yabadde ataddewo ey’eddakiika 56:42 e Barcelona mu February omwaka oguwedde.

Abawanguzi mu miteeko egy'enjawulo nga bakwasiddwa engule zaabwe
Engule eno yagivuganyizzaako n’abaddudi abalala, Abel Chelangat eyawangudde emisinde gya Barcelona Marathon egy’omulundi ogwa 47 egyaddukiddwa nga March 15, 2026 mu ssaawa 2:04:59 wamu ne Sarah Chelangat eyakutte ekyokubiri mu gya Paris Half Marathon mu ssaawa 1:06:31.
Mu mupiira gw’abakazi ekirabo kitwaliddwa Doreen Kiiza owa kiraabu ya Uganda Martyrs FC ng’ono yateebye ggoolo nnya mu mipiira eya ate n’ayamba kiraabu ye okufuna ggoolo endala bbiri.
Ono yamezze Jovia Nakagolo owa kiraabu ya Kawempe Muslim wamu ne Mario Serunga owa kiraabu ya St. Noah.
Mu bikonde balonze David Ssemuju abicangira ensimbi mu Japan nga ono yeddizza engule WBO Asia Pacific n’eya Japanese national welterweight title.
Ssemuju eyabizannyirako ne mu ttiimu y’eggwanga ‘The Bombers’ yamezze Farahat Manirola eyataddewo essuula empya nga ye munnayuganda eyasoose okuwangula ebikonde by’ensimbi mu ggwanga lya Russia era ng’abizannyira mu kibinja kya Champions League ekya Uganda Boxing Federation (UBF).
Omulala eyabadde mu lw'okaano ye musaayimuto Saiya Nsubuga eyasinze banne okuzannya (MVP) mu bikonde bya National Intermediates Boxing Championship ebyawedde omwezi oguwedde.
Abawanguzi ebirabo byabakwasiddwa abakungu, Reste Mbatudde owa Fortebet, Aeron Nandawula owa Jude Color Solutions.
Akulira emirimu mu Real Stars, Isaac Mukasa asiimye abazannyi abaayolesezza omutindo mu mizannyo egitali timu mu mwezi gwa March era n’abaawangudde wabula n’akowooka abavujjirizi okuvaayo beetatte mu kusiima abazannyi okubazzaamu amaanyi.
“Tusiimyeko abazannyi mu mizannyo ena gyokka wadde nga n’emirala mingi girimu abaakoze obulungi. Singa tufuna abavujjirizi abalala, abazannyi bangi bajja kutandika okusiimibwa,” Mukasa bwe yagambye.
Abazannyi ba Uganda baatandika okusiimibwa n’ebirabo bya Fortebet Real Stars buli mwezi okuva mu 2018 okusinziira ku Mukasa