Ebyemizannyo

Arsenal erina okwongeramu - Mikel Arteta

OMUTENDESI wa Arsenal, Mikel Arteta alaze obweraliikirivu eri batabani be bw'agambye nti awatali kwongeramu nnyo, ebiruubirirwa byabwe biyinza okubalema sizoni eno.

Gyokeres
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Arsenal 1-1 Dortmund
OMUTENDESI wa Arsenal, Mikel Arteta alaze obweraliikirivu eri batabani be bw'agambye nti awatali kwongeramu nnyo, ebiruubirirwa byabwe biyinza okubalema sizoni eno.

"Singa tugenda mu maaso nga tuzannya bwe tuti, tewali kye tugenda kutuukako sizoni eno. Tukyabulamu okuzannya omupiira ogukuba omulabe n'asigala ng'akkirizza. Kino kye kisinze okutukosa mu nsiike ya leero," Arteta bwe yagambye.
Okwogera bino, kyaddiridde Arsenal okukola amaliri ne Dortmund (1-1). Victor Gyokeres ye yasoose okuteeba mu ddakiika y'e 10 nga Maximilian Beier tannafunira Dortmund yakyenkanyi mu ya 55.
Sizoni eno, Arsenal tennakubwamu mu Champions League, erina wiini 3 n'amaliri 2. Ggoolo ya Gyokeres, ye ggoolo ya Arsenal ey'e 400 mu mpaka zino.

Tags: