Obulabe obuli mu kutimba malidaadi ku kifo awali 'Air Bag' z'emmotoka!

Sep 11, 2022

KYABULABE nnyo okubikka air bag  n’okutuuzza omwana omuto mu maaso kubanga ssinga emukuba kiba kizibu okuwona.

NewVision Reporter
@NewVision

AIR BAG  kye kintu ekiri mmotoka ekibaamu  omukka ekikuyambako  okukutaasa  ssinga  akabenje kagwawo nga kaamaanyi nga Denis Kimera makanika  e Mulago bw’annyonyola:

Buli kintu ekiri mu mmotoka kyamugaso eri obulamu bw’omuntu naye abamu ku bavuzi b’ebidduka tebabitwala ng’ekikulu.

Air Bag z'emmotoka ya Nadia nga zivuddeyo.

Air Bag z'emmotoka ya Nadia nga zivuddeyo.

Air Bag zitekeebwa mu mmotoka n’ekigendererwa ky’okutaasa  abagirimu ssinga  wabaawo akabenje  wabula   abamu ku bagoba b’ebidduka balina omuze oguzibikka ne baziteekako ebyoya bya malidaadi ate nga kya bulabe .

Air bag okusinga ziteekebwa mu mmotoka za buyonjo; waliwo ezibeera ku misipi , ku siteyalingi , mu ntebe  ne ku Dash Board.

Ono ekifo awali Air Baga ate yassaawo kyoya kya malidaadi.

Ono ekifo awali Air Baga ate yassaawo kyoya kya malidaadi.

Bw’ogiteekako ekintu kyonna kitegeeza nti mmotoka bw’efuna akabenje tesobola kuvaayo. Air Bag tebagikolamu  saaivisi okuggyako nga mmotoka efunye akabenje n’evaayo olwo baba balina kussaamu ndala.

 Abavuzi b’ebidduka abamu balina omuze ogutuuza abaana mu maaso. Kino kyabulabe nnyo kuba ssinga mmotoka efuna akabenje Air Bag n’evaayo olw’okuba ekozesa amaanyi mangi esobola okumukuba  bubi nnyo katonda azza bibye. Ekukuba ekuzza mu ntebbe ate esinga kuyamba nnyo ababa basibye emisipi.

Ekimu ku bifo mu mmotoka awaterekebwa Air Bags.

Ekimu ku bifo mu mmotoka awaterekebwa Air Bags.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});