Okulimira mu mayinja kiyamba okugoba endwadde mu musiri gwo
Nov 29, 2022
Yiga engeri gy'oyinza okulimira mu mayinja kiyamba okugoba endwadde mu musiri gwo.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Herbert Musoke
OBULWADDE bwa kiwotoka kimu ku bisinga okufiiriza abalimi b’ebirime ebirina emirandira emitono mu bitundu by’amasekkati ga Uganda. Dr. Irene Bayiyana, omunoonyereza mu byobulimi mu kitongole kya National Agricultural Research Organisation (NARO) agamba nti, obuwuka obuleeta obulwadde buno businga kwegiriisiza mu masekkati ga Uganda olw’embeera y’obudde ey’enkuba etonya
ate n’akasana.
Kino kifiiriza abalimi bangi abali mu birime nga ennyaanya, bbiriηηanya, emboga, entula, obutunda, kaamulali n’ebirala ebigwa mu kkowe lino ababirimira mu ttaka
mu nnimiro ate nga n’abakozesa ettaka mu kulimira mu biyumba bibasumbuwa oba okwongeza ensaasaanya nga balina okufumba ettaka nga tebannasimba.
Omuwendo gw’abalimi abalimira mu biyumba (Green house), gugenda gweyongera kyokka era n’abasigala nga batawaanyizibwa kiwotoka mwebali wadde nga
wandirowoozezza nti, alimira mu kiyumba olw’okuba ettaka libeera ffumbe obulwadde buba buttiddwa.
“Kye twerabira nti ettaka buli lw’oliyiwamu amazzi lidda buto n’obuwuka bwonna obubeeramu ne buddamu buto nga wano ne kiwotoka w’addiramu era omulimi
akozesa ettaka talina bw’amwewala kuba essaawa yonna akomawo ebirime ne birwala”, Kenneth Ssempijja omulimi w’omu kiyumba ng’akozesa amayinja bw’agamba.
OKULIMIRA MU MAYINJA
Ssempijja agamba nti, okulwanyisa kiwotoka yatandika okulimira mu kiyumba ng’akozesa ebintu eby’enjawulo omuli; amayinja, obukuta bw’embaawo, ebiwaawo
bya kkooko ebisekuddwa kw’ossa olusennyente lw’amayinja okuva e Kenya.
Agamba nti, bino byonna biyamba omulimi kuba tebitereka buwuka bulwaza kiwotoka ate nga bikuuma amazzi olwo omulimi n’asobola okukekkereza ensaasaanya
n’okwongeza ku magoba.
“Ekiyumba eky’obugazi bwa ffuuti 9 ku 30 ng’okozesa ebintu bya bulijjo okuli; emiti, ekiveera n’ekitimba kisobola okukutwalako obukadde 12 kyokka ng’ekiyumba
kye kimu ng’okiguze kisobola okugula obukadde obusoba mu 20.
Ekiyumba kimu osobola okukikozesa okulima ebirime eby’enjawulo ng’okyusakyusa era nga nze nnima cukkamba omuwanvu, obunyaanya (obutono n’eza bulijjo),
kaamulali.
Mu kiyumba muno mugendamu ennyiriri mwenda ezikolebwa nga obugulumu ng’okozesa amayinja.
Ebimu Ku Birime Ssempijja By’alimira Ku Mayinja.
Ngayiwa ku kiveera ekigumu olwo ne nsimbamu ebirime ng’ekiyumba kino kisobola okugendamu ebikolo 1,000 ebya cukkamba oba ennyaanya ebikolo 1,800.
Ekikulu mu kulimira mu mayinja kibeera mu ttaka mw’otabulira emmere y’ebirime by’ogenda okulima kuba mu mayinja temubeera biriisa okuggyako okukikwata ne kitagwa n’okutambulirako emirandira nga kitegeeza nti, olina kukiriisa.
Amazzi gano ge gatambuza emmere wabula olina okubeera n’obukugu okusobola okumanya ekika ky’ebiriisa ekirime ky’osimbye bye kyetaaga okusinziira ku
bukulu bwe kiriko kuba buli kirime kyawula ate n’obukulu bwawula ebyetaago ate nga n’amazzi galina okubimala.
Nkozesa liita z’amazzi 2,000 buli wiiki nga nfukirira emirundi ebiri nga buli mulundi gutwala liita 1,000 ate ng’amazzi ge nkozesa okufukiriza ngalembeka ku ludda lwa buli layini olumu ate ne gaddayo mu ttaka era ne nziramu okugafukiriza kuba gabeera mayonjo olw’amayinja okugalongoosa.
Wano mbeera nkekkereza okusinga akozesa ettaka abeera alina okufukirira buli luvannyuma lwa nnaku bbiri ng’ayiwa liita 2,000 olwo wiiki n’abeera ng’akozesezza
liita liita 6,000 ekikendeeza amagoba ge wandifunye.
Nneetaaga abakozi batono kuba mu mayinja temumeraamu muddo mungi era ku ffaamu yange nnina omukozi omu yekka gwe nkola naye okulabirira ebiyumba bisatu.
Amayinja gano gategekebwa omulundi gumu ate ng’osobola okugalimiramu okumala emyaka egisoba mu etaana so ng’ettaka olina okulisiika n’okulyongerako buli
lw’ogenda okuddamu okusimba.
AMAKUNGULA
Mu kiyumba ekimu eky’obugazi bwa ffuuti 9 ku 30, Ssempijja akungulamu kkiro za cukkamba omuwanvu kkiro 150 buli luvannyuma lwa nnaku ssatu olwo wiiki
n’akungula kkiro 300 nga buli kkiro agitunda ku 2,000/- mu katale e Nakasero era ng’asobola okukungula okumala emyezi ena.
Kino kitegeeza nti, afuna 600,000/- buli wiiki olwo omwezi bwe bukadde bubiri n’emitwalo 40.
Bw’aba asimbye nnyaanya asobola okukungulamu kkiro 200 buli luvannyuma lw’ennaku ssatu olwo mu wiiki n’akungula kkiro 400 nga ezaabulijjo kkiro egula wakati wa 3,000/- ne 4,000/- ate obutono kkiro ya 5,000/- nga ye bbeeyi esinga
obutono. Kino kitegeeza afuna akakadde kamu n’emitwalo 20 ate omwezi obukadde buna n’emitwalo 80. Obutono afuna obukadde bubiri mu wiiki ate omwezi obukadde
munaana.
AMAZZI
Olw’okuba amazzi kikulu mu kulimira mu kiyumba, Ssempijja agamba nti, w’ali waliwo engeri y’olutobazzi era yasimawo ng’ayongera ku mazzi g’alina ku ffaamu nga muno yassaamu n’engege 1,000 nga mu kiseera kino ziri mu myezi ebiri. Amazzi gano agakuba ne ppampu okugatuusa mu ttaka namwo mw’ateeka ppampu okugakuba mukiseera ky’okufukirira.
OKUSOOMOOZEBWA
1. Okumanya enkozesa y’amayinja kuba abalimi b’ebiyumba abasinga bakozesa ttaka.
2. Akatale, kuba okulimira mu mayinja kuwa omulimi amakungula g’omutindo ate ng’alima mu ngeri eyeesigama ku butonde kyokka mu katale byonna bitwalibwa mu
ttuluba limu.
3. Abalimira mu mayinja tuli nga basatu ffekka ekizibuwaza okutunda ebirime byaffe. Noolwekyo tuli mu kaweefube okusomesa abantu abalala twekolemu ekibiina
tusobole okutundira awamu n’okulwanira awamu ku bitusoomooza.
ENTEEKATEEKA EZ’OMU MAASO
Ekirooto kya Ssempijja kwe kubeera ne yiika z’ettaka kkumi nga zonna azitaddeko ebiyumba mw’alimira olwo abeere ng’amanyiddwa si mu Uganda mwokka
wabula n’ensi yonna kuba agenda kuba ng’asobola okufulumya obungi bw’emmere kkampuni yonna gy’anaakola nayo kontulakiti gyenaabeera yeetaaga.
No Comment