Kozesa eddagala lya Muwugula okuzibukula ekiwanga!
Mar 30, 2025
MUWUGULA ddagala eriyamba mu kuzibukula ekiwanga okuli emimiro n’ennyindo ezifeekeera ekikuleetera obuzibu mu kussa. Era liyambako okujjanjaba omuntu afuna alaje ow’enjawulo.

NewVision Reporter
@NewVision
MUWUGULA ddagala eriyamba mu kuzibukula ekiwanga okuli emimiro n’ennyindo ezifeekeera ekikuleetera obuzibu mu kussa. Era liyambako okujjanjaba omuntu afuna alaje ow’enjawulo.
Christoper Sande, ng’akola ne kkampuni ya Wakiso Natural Products Development Association e Nansana nga yatendekebwa ekitongole kya Uganda Natural Chemotherapeutics Research Institute e Wandegeya, agamba nti,
muwugula bangi bamulaba kyokka nga tebamanyi nti, ddagala ddungi mu bulamu bwabwe.
Agamba nti, eddagala lino mulimu ebirungo bingi ddala ebiyambako mu kujjanjaba omuntu alina obuzibu mu mimiro, ennyindo n’ebitundu byonna ebikwatagana n’okussa nga wano agamba nti, nywa muwugula ennyindo ezibadde zifeekeera n’olemererwa okussa zizibukuka.
MUWUGULA ALIMU EBIKA BIBIRI
Muwugula mu Lungereza ayitibwa ‘Cocklebur’ ate mu ssaayansi bamuyita ‘Xanthium stramonium’. Omuddo guno gumera mu bitundu eby’enjawulo.
Gulina ebikoola ebigazi n’obuti obutono okuli obusigo obwekwata akalimba.
Obusigo bwagwo naddala obukaze buliko olwoya olwetippa ku ngoye oba ku byoya by’ebisolo ebiyitawo.
Muwugula alimu enjawulo okuli, omutono gwe baakazaako omukazi n’omulala omuneneamanyiddwa ng’omusajja.
Ebirungo ebiri mu muwugula biyamba okufuna ekyagala okulya n’okuyamba okuggyamu obucaafu mu kibumba.
No Comment