Yiino engeri gy'olabiriramu ebigere by'emmotoka okwewala obubenje
Apr 22, 2025
Ku bigere kuliko eky'omuliro, Bbuleeki ne Kulaaki bw’ebeera mmotoka ya ggiya, ey’essaamu ggiya yokka kubaako bibiri Bbuleeki n’omuliro.

NewVision Reporter
@NewVision
EBIMU ku bintu baddereva bye babuusa amaaso oluusi bivaako bubenje nga tebamanyi mulimu ebigere by’olinnyako okutambuza n’okusiba ekidduka kyo.
Ku bigere kuliko ekyomuliro, Bbuleeki ne Kulaaki bw’ebeera mmotoka ya ggiya, ey’essaamu ggiya yokka kubaako bibiri Bbuleeki n’omuliro.
Muhammed Kibirige, Makanika okuva ku garagi ya Risam e Mengo annyonnyola ku bigere bino engeri gye bikolamu n’endabirira yaabyo.
Omuliro: kino kye kisooka ku ddyo era kw’opimira omuliro emmotoka sipiidi kw’etambulira
Buleeki; Eno eyamba okusiba emmotoka era kye kibeera wakati.
Kulaaki; Eno eyamba okussamu ggiya mu mmotoka.
Kibirige Ng'alaga Awasangibwa Ekigere Ky'emmotoka.
ENDABIRIRA Y’EBIGERE BY’EMMOTOKA
Buleeki: Teteekeddwa kubaako w’eyisiza oba okutonnya naddala okukuuma amazzi gaayo. Kitegeeza nti masita sirinda bw’efuna obuzibu ku ppayipu ezitambuza amazzi, ogirinnyako ng’egwayo bugwi n’etasiba ekiyinza okuleeta akabenje.
Buleeke fuluudi olina okumufaako obutaggwamu era bw’aggwaamu yongeramu omulala.
Omuliro: Kino kibeerako sseppulingi. Kkebo y’omuliro erina okuba ng’ekola bulungi nga teriimu kantu konna keekwata kuba waliwo abatabifaako nga bw’alinnya omuliro gw’ekwatirayo emmotoka n’edduka obutasirika.
Kirungi okukebera sirinda zino obutayingiramu nfuufu ekiyinza okukwasizaayo omuliro ng’olinnyeko. Kyokka n’omuliro gwennyini gusobola okukaddiwa era kirungi okutonnyeza ne wooyiro mu sseppulingi zino.
Kulaaki: Eno nayo teteekeddwa kubaako nkenyera yonna.
Kibirige agamba nti ebigere by’emmotoka bibeerako ebipiira kw’olinnya kyokka waliwo abagayaala ne babirinnya okutuusa okuggweerera ne kusigalako buuma bwokka. Kino kyabulabe kuba oyinza okulinnyako ekigere ne kiseerera. Kirungi okuteekako ebipiira ebipya obutaseerera kukola kabenje.
Waliwo n’abantu abookerera ebigere by’emmotoka nga bikutuse ky’agamba nti sikituufu olw’okuba oyinza okubeera mu lugendo n’olinnyako ne kikutuka. Kirungi bwe kiba kikutuse okussaako ekipya obutaleeta buzibu.
Kibirige awunzika awa ba ddeereva amagezi okutwalanga mmotoka zaabwe mu bamakanika abakugu era n’okuzikeberanga buli olukedde okulaba embeera obutaleeta buzibu nga bavuga.
No Comment