Poliisi efungizza ku baddereeva abavuga endiima mu bibuga
Apr 22, 2025
Abavuzi b’ebidduka balagiddwa okussa mu nkola etteeka lya sipiidi eya 30km/hr mu bifo ebirimu abantu abangi omuli obubuga, amasomero, amalwaliro, obutale amasinzizo n’ebirala.

NewVision Reporter
@NewVision
Abavuzi b’ebidduka balagiddwa okussa mu nkola etteeka lya sipiidi eya 30km/hr mu bifo ebirimu abantu abangi omuli obubuga, amasomero, amalwaliro, obutale amasinzizo n’ebirala.
Etteeka lino liri mu tteeka eddene erifuga ebidduka n’okulwanyisa obubenje ku nguudo erya 1998 wabula nga lyakolebwamu ennoongosereza mu 2020 nga lyayisibwa ku ntandikwa y’omwaka guno ne lissibwa mu katabo ka gavumenti aka Gazette.
Etteeka lino lyagendererwamu okutaasa obulamu bw’abantu mu bifo bino.
Minisitule y’entambula awamu ne poliisi bali mu nteekateeka ya kukwasisa tteeka lino oluvannyuma lw’okumanyisa Bannayuganda bonna ssaako n’okussa obupadde obulambika 30Km per Hour mu bifo ebikwatibwako.
Judith Karara omu ku bali mu nteekateeka eno mu minisitule y’ebyenguudo n’entambuia yagambye bali mu kutendeka battulafiki ku ng’eri gye bagenda okukwasisaamu etteeka lino.
Micheal Kananura omwogezi wa poliisi y’ebidduka mu ggwanga yagambye nti bongedde okussa kkamera mu bifo we batadde obupande okukwata abavuga endiima.
Etteeka lino lirina ebibonerezo bikakali ng’engassi eyaakagwirawo ya 600,000/- okuva ku 200,000/- ezo ezibadde ziweesebwa abavuga endiima.
No Comment