By'olina okutereeza ku mmotoka ogivuge bulungi mu budde bw'enkuba
Apr 29, 2025
MU biseera eby’enkuba, ddereeva alina okulaba ng’ebiyamba mmotoka okutambala obulungi mu kiseera kino bikola bulungi okwewala okulemwa okutambula

NewVision Reporter
@NewVision
MU biseera eby’enkuba, ddereeva alina okulaba ng’ebiyamba mmotoka okutambala obulungi mu kiseera kino bikola bulungi okwewala okulemwa okutambula.
Juma Kawenja, makanika ku Rapid Motors Garage e Wandegeya agamba mu biseera by’enkuba waliwo ebintu omuvuzi wa mmotoka by’alina okukakasa nti kwebiri ku mmotoka era nga biri mu mbeera nnungi.
Bino kuliko;
1 AC ya mmotoka okubeera ennamu: Eno eyamba endabirwamu za mmotoka obutabaako kifu. Enkuba ng’etonnya endabirwamu za mmotoka zambusibwa, mmotoka yonna n’esibwa obutayingiza mazzi. Olw’ebbugumu eribeera munda, kiviirako endabirwamu okubeerako olufu naye bw’ossaako AC ekizibu kino tokifuna. Abamu basiimuula endabirwamu naye kino kiyamba kaseera katono olufu ne luddako.
2 Ebisiimuula amazzi ku ndabirwamu y’omu maaso (Wipers): Singa ziba tezikola omuvuzi kimukaluubiriza okulaba gy’alaga kubanga amazzi gabeera mangi.
3 Amataala: Olumu naddala ng’enkuba nnyingi, obudde bukwata n’oba nga tolaba bulungi. Oba olina okussaako amataala g’omu maaso n’emabega abavuzi abalala ku kkubo okumanya nti waliwo mmotoka etambula okwewala
obubenje.
4. Emipiira girina okubeerako enjola kikuyambe obutaseerera nnyo.
5 Okukakasa nti bbuleeki ziri mu mbeera nnungi. Omuvuzi bw’owulira nga buleeki za mmotoka yo zikola amaloboozi agatali malungi, kiraga nti ziriko obuzibu. Kirungi okuzikolako ng’obudde bukyali kubanga bw’ogayaala
n’ovuga mmotoka erina buleeki ezitali nnamu mu biseera by’enkuba, emikisa giba mingi okukola akabenje.
No Comment