Okwogera bino, omulangira Nakibinge abadde mu maka g’omuloodi Lukwago agasangibwa e Wakaliga mu munisipaali y’e Lubaga, mu dduwa eyategekeddwa okwebaza ALLAH olw’obulamu bwa Erias Lukwago bweyayiseemu obutabadde bwangu, omubadde okulwala okw’emirundi ebiri, nga beebaza katonda okumussuusa ate n’okumusaba amwongere obulamau ayongere okukolera bannayuagnda n’okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe obwamulondesezza mu kisanja ekigenda okutandika.
Omukolo gwetabiddwaako ebikonge eby’enjawulo okwabadde; Haji Twaha Kawaase omumyuyka wa katikkiro ow’okubiri asiimye Lukwago okuteekawo enkolagana ennungi wakati wa KCCA ne Mengo, Haji Ibrahim Ssemuju Nganda omubaka wa Kira Munisipality, Meeya wa Lubaga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, Zacchy Mawula Mbeeraze meeya wa Lubaga omulonde, Haji Latif SSebaggala omubaka wa Kawemope North, Mbabaali ow’e Masaka, Juliet Nambi akulira ebyenjigiriza mu KCCA, Doreen Nyanjura omumyuka wa meeya, Moses Ksaibante omubaka wa Lubaga North n’abalala bangi.

Omuloodi Lukwago Ngayogerako Eri Abagenyi Be
Lukwago yeebaziizza abantu bonna abamuteeramu essaala okusobola okussuuka obulwadde nategeeza nti akyakli ku ddagala nti, naye yeewulira nga kati alina amaanyi era engabo agenda kugikwasa maanyi mu kisanja kye ekigenda okutandika.
Annyonyodde obulwadde obubadde bumuluma nti, abadde akaluubirizibwa mu kussa, okulumwa amawugwe n’okulumw amu kifuba nti naye bigenda bitereera.
Yeebazizza ALLAH olw’ekirabo ky’obulamu nategeeza nti, amangu ddala ng’ateredde bulungi, ebizibu bya ba nnakampala omuli; Kasasiro, enguudo embi, n’ebirala, byatandikira okulaba nga bafuna obulamu obweyagaza. yeennyamidde olw’ebikolwa eby’ekko ebigenda mumaaso mu ggwanga omuli; okutirimbula abantu n’amasasi mu ngeri etategeerekeka, abantu abasibw anebavundira mumakomera awatali musango, naasaba ALLAH ataase eggwanga ebikolwa bino.
Abagenyi bonna beebazizza katonda olw’obulamu bwa Lukwago nebamusaba okunyweera kuba embeera eriwo agiraba, yeetaaga okwesiba ebbiri okusobola okugyanganga.
Oluvannyuma Lukwago asiibuludde abasiraamu nebalya n’okunywa.