Bya Samson Ssemakadde
AKADEMI e Kibuli etendeka omupiira gw'abaana n'okuyamba okukuza ebitone byabwe eby'enjawulo edduukiridde abataliiko mwasirizi ng'eyita mu kubawa ebikozesebwa awaka omubadde ne mmere.
Avunaanyizibwa ku bya pulojekiti ezitegekebwa, Baker Duda agamba'' nga tuyambibwako akulira eby'emirimu mu akademi eno eya Artsy Africa, Eddie Kayiira, buli mwaka nga twolekera Iddi, tuddiza ku bantu abatalina buyambi okuli bamulekwa, bannamwandu, abakadde ssaako n'abatasobola kwetuusaako byakulya. Bano tubakungaanya okuva mu bitundu eby'enjawulo netutandika okubakwasa obuveera,''. Duda bw'agamba.
Mu bya bibaweereddwa mubaddemu ebikozesebwa awaka wamu n’emmere ng'omuceere, akawunga, ssukaali, ebijanjaalo n'ebirala.