'Musigale nga mugoberera empagi z'Obusiraamu nga gubadde mu kisiibo'
BANNAYUGANDA basoomoozeddwa okussaawo enkolagana ennungi n'abantu be bawangaala nabo nga tebasoose kwesigama ku njawukana za madiini yadde ebibiina by’obufuuzi bye bakkiririzaamu.
Shiekh Juma ng'abuulira
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
Bino byabadde mu bubaka bwa sheikh Sajjab Buyungo mu kusaala ku muzikiti gwa Masjid Hussein e Nansana mwe yakuutiridde Abasiraamu okusigala nga bagobereera empagi z’Obusiraamu nga bwe babadde mu kisiibo okusigala nga bafuna empeera.
Sheikh Buyungo agamba nti mu kiseera ky'ekisiibo Abasiraamu babadde n’empiisa era nga ne ssente zaabwe baziteeka mw'ebyo ebibagasa kyokka ne yeewuunya olw'Abasiraamu abazzeeyo edda mu gayisa agabi omuli obwenzi n'ebikolwa ebirala kyokka nga bino babadde babyewaze mu kisiibo era nga ne ssente zaabwe bazikozesa byamakulu byokka.
Sheikh Sseguya Nga Asabiira Abasiraamu Ku Juma
Ono era yasiimye nnyo Abasiraamu b’omuzikiti guno olwokulaga obwasseruganda ne baguliira Imam waabwe Sheikh Sulaiman Sseguya mmotoka okusobola okumwanguyiza ku byentambuula n'agamba nti kano kabonero akalaga nti basiima omulimu gw’okubakulembeera gw'abakolamu.
Ye Imam Sseguya mu kusaala kuno mwe yeebalizza Abasiraamu abayimiridde naye kati emyaka 5 bukyanga batandikawo muzikiti guno gw'agamba nti gulina abasaaze abasoba mu 800 nga bano be beesonda ne bamutoneera emmotoka.