Abakristaayo mufeeyo ku mutindo gw'abakebezi be mulonda
May 16, 2021
Ng'okulonda abakebezi mu bulabirizi bw'e Namirembe kugenda mu maaso , Abakrisitaayo basabiddwa okubeera abeegendereza mu kusunsulamu abo abagenda okukola omulimu guno.

NewVision Reporter
@NewVision
Ordinand Godfrey Mahonje okuva mu kkanisa ya St. Luke -Namasuba yagambye nti omukebezi alina okuba ng'alina okumanya n'okutegeera ate nga wa mmizi eri ebyama by'ekkanisa.
"Mulonde abekebezi ab'emmizi ,abalina empisa mu kkanisa ne wabweru waayo abatagenda kubba ssente za birabo n'okwasanguza ebyama by'abakulisitaayo mu mpaayo yaabwe ey'ebirabo n'ekimu eky'ekkumu,"Mahonje bweyagambye.
Yabadde abuulira mu kkanisa ya St. Apollo Kivebulaaya -Namasuba ku Ssande n'agamba nti obutakkaanya mu bukulembeze mu bukukembeze mu kkanisa bwava dda wabula ng'abo abamanyiddwa nti bakyamu tebalina kulondendwa.
'Temuzibikiriza bantu be mumanyi nti bakyamu mu bintu eby'enjawulo ne mubakkiriza okulondebwa ku bukebezi.
Abakebezi kitundu kinene nnyo mu kkanisa era yeemu ku nsonga lwaki balondebwa buli mwaka," Mahonje bwe yagambye.
Related Articles
No Comment