Agambibwa okukulira akabinja akawamba abaana ne babatunda mu basamize bamukutte
May 16, 2021
OMUSAJJA poliisi gw’erudde ng’enoonya ku bigambibwa nti, y’akulira akabinja akawamba abaana ne babatunda mu bazungu ne mu basamize.

NewVision Reporter
@NewVision
Yunusu Bakaki 44, oluusi yeyita Yunusu Kabbu baamukwatidde Elegu ku nsalo ya Uganda ne South Sudan ku Lwokuna.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, yakwatiddwa omuduumizi wa poliisi y’e Amuru SP Emmanuel Bwambale oluvannyuma lw’okuweebwa ebiragiro okuva mu bakama be kyokka ono yagaanye okwogera engeri gye baamukutte n’ajuliza omwogezi wa poliisi Fred Enanga.
Ebitongole byeebyokwerinda bibadde bimaze emyezi egiwera nga birinnya Bakaki akagere nga bambega basinziira ku ssimu ye, mikwano gye ab’enganda ne bizinensi ze.
Bakaki ye musajja eyalabikira mu katambi akaakwatibwa munnamawulire wa BBC Chris Rogers mu 2011 ng’agamba nti, kafulu nnyo mu by’okukusa abaana n’abaguza abazungu n’abasamize.
Yategeeza bannamawulire nti, alina abaana bangi nnyo ne bwe baba baagala abaana 100 alina abantu bangi b’amanyi abasobola okubamutusaakoa.
Bwe baamubuuza engeri gy’agenda okukikola okubawa abaana yagamba nti, waliwo engeri nnyingi bo gye baba baagala gy’asobola okukozesa.
“Tewali kifo we bakuumira baana kye sisobola kuggyamu mwana bwe muba mwagala kuyita mu mateeka.” Bakaki bwe yagamba bannamawulire.
Bannamawulire ba BBC, baali bazze mu Uganda okunoonyereza ku kiwamba baana ssaako okubasaddaaka n’abali emabega era Bakaki byonna bye yanyumya, yabinyumya tamanyi nti bamukwata ku kkamera.
Yasaba pawundi 10,000 ku buli mwana (mu za Uganda 45,000,000/-) era wano, bannamawulire we baabuukira mu ddiiru.
Bwe baamukutte yagambye abaserikale nti, talina ky’amanyi ku bya kuwamba baana ye yali anoonya ssente ng’ayagala bannamawulire bamusasule.
Bakaki baamukwatidde mu kikwekweto ekirimu ebitongole byonna mu ggwanga era eggulo ku Ssande, bambega b’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya CMI baamuggye mu disitulikiti y’e Amuru gye baamukwatidde ne bamuleeta mu Kampala.
Dayirekita w’eby’obufuzi mu poliisi AIGP Asan Kasingye yatadde ku mukutu gwe owa Twitter n’agamba nti, akatambi akabadde katambula kaakwatibwa mu 2011 era Bakaki baamukutte bamulina mu mikono gy’amateeka.
Bambega baakizudde nti, Bakaki agamba nti ava Busoga, alina amaka mu Elegu, Bombo n’ebitundu by’eggwanga ebirala era tabeera mu kifo kimu kumala bbanga ggwanvu ekibadde kizibuwazza okumukwata.
No Comment