ENNAKU zino omuntu bw'agaana okugula kkopi ya Bukedde okugisoma, abeera ng'omwana agaanyi okugenda ku ssomero. Bukedde yafuuka musomesa wa buli muntu kyova olaba buli ku makya mukama waffe Mw. Jude Sserunjogi yalifuula tteeka okutugulira kkopi za Bukedde bbiri ze tusoma okumanya ebigenda mu maaso mu ggwanga.

Bino bye bimu ku bigambo ebyayogeddwa baana bawala Tino Faith, Berinah Nalukwago ne Joyce Nabatanzi abakola mu kkampuni ya Jude Color Solutions ku Prime Complex mu Kampala bwe baabadde bajjuza obukonge mwe banaayita okwewangulira ku birabo bya Gabula Ssekukkulu.
Bano nga bakulembeddwa Faziira Nassolo baategeezezza nti ebirabo by'okuwa abaagalwa baabwe omuli abaami, abaana ne mikwano gyabwe ku Ssekukkulu n'Olusooka Omwaka baamaze dda okubifuna nga kati banoonya nkoko za Ugachick n'ebyassava ebirala bye banaalya n'okugabako eggandaalo lya Ssekukkulu libanyumire.
Nassolo yasiimye Bukedde olw'okuba abayiiya ng'ate bye bayiiya biyamba bakasitoma. Yabuuzizza nti, ''kinsala ki okugula olupapula lw'amawulire lwa 1,000/- ne nfuna enkoko ya 30,000/- ne byassava ebirala?''. Yagambye nti basiima emiko nga Yiiya Ssente, Enkumbi Terimba, Tambula n'Omulembe n'omuko gwa Hajji Ssebalu egibayambye okuyiga ebintu eby'enjawulo ne babeera abamanyi mu nsonga ezitali zimu naddala engeri gye bakwatamu bakasitoma.
Nassolo akubirizza abantu okwettanira okujjuza akakonge kano basobole okwewangulira ku ttu lya Ssekukkulu anti Bukedde bw'agabula buli muntu amusembeza ku lujjuliro. Okwetaba mu kalulu kano ogula kkopi y'olupapula lw'amawulire olwa Bukedde ku 1,000/- zokka, ogende ku muko ogwokubiri okuli akakonge. Jjuzaamu erinnya lyo, ennamba yo ey'essimu ne gy'obeera. Bw'omaliriza, akakonge kaleete ku ofiisi zaffe e Lugogo mu kibangirizi kya bannamakolero oba okawe agenti waffe eyo gy'oguze amawulire.
Ate ku Bukedde Fa Ma ‘Embuutikizi' linda oluyimba lwa Philly Lutaaya olwa "Merry Chrismas" nga luzannyiddwa. Bw'okuba essimu nga ggwe owookusatu, ojja kubeera muwanguzi ogende mu ‘supermarket' ya Mega Standard weefunire ebyassava. Ne ku Bukedde Ttivvi, bw'olaba oluyimba lwe lumu n'okuba essimu, obeera owangudde.
Gabula Ssekukkulu omwaka guno awagiddwa kkampuni y'ebyenkoko eya UgaChick, Mary and Jesus Wines ne Mega Standard supermaket. Abantu abalala abalina omutima omugabi bakyasobola okwegatta ku Bukedde okwongera ku birabo ebinaagabibwa mu Gabula Ssekukkulu.