Abavubuka baweereddwa amagezi okulima omuddo ogw'okutunda

ABAVUBUKA baweereddwa amagezi okusimba omuddo okukosebwa mu bulunzi mu kifo kyokwetundako ettaka.

Abavubuka baweereddwa amagezi okulima omuddo ogw'okutunda
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bino byayogeddwa Victoria Ssekitoleko eyaliko minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi mu Uganda bwe yabadde alambula ffaamu ya Itongo Pastures e Naluvule-Wakiso eya Pison Busingye ne mukyalawe Jolly Asiimwe ng’agamba nti bizinensi ekokla ssente.

“Nga buli omu atakula omutwe okunoonya engeri gy’asobola okwebezaawo naddala nga ssennyiga omukambwe ayuzizzayuzizza eby’enfuna mu nsi yonna, okusimba omuddo bizinsinsi efuna buli omu gy’asobola okukola”, Ssekitoleko bw’agamba.

Ono agamba nti abalunzi beeyongedde mu bibuga ate ng’ebikuta abalunzi bye babadde bafuna okuva mu butale byeyongedde bokubula nga kati betaaga omuddo gwe basobola okuliisa ensolo zaabwe nga singa olima omuddo akatale weekali.

Agamba nti abantu bangi balina ettaka nga beebuuza bye basobola okulikolerako naye  okusimbako omuddo  bizinensi esobola okukola ssente kuba gukula mangu nga mu myezi esatu obeera otandise okukungula ate obutafaanagana na birime birala, tobeera na kweraliikirira lwa babbi kuba bangi tebagumanyi.

Dr. Jolly Kabirizi omukugu mu kunoonyereza ku ndiisa y’ensolo agamba nti mu kiseera kino abalimi b’ongedde okumanya nti okufuna mu bulunzi olina okuliisa obulungi ensolo nga bakozesa omuddo ogulimu ebiriisa eby’enjawulo eri ente, embuzi, enkoko, obumyu n’ebirala.

Busingye agamba nti yasalawo okulima omuddo, okugwongerako omuwendo, okutunda ensigo kwossa okusomesa abalunzi n’abalimi ku kyebeetaaga okulima omuddo kuba n’atali mulunzi asobola okulima omuddo n’aguza abalunzi ng’akikola nga bizinensi.

Wano ninawo ebika by’omuddo nga 18 omuli; Croris gayana, kifuta, Chuuchi, ebisagazi (kakamega 1 ne 2), gwatamala, giant cetaria, sastania, caliandra, nanibary, gricidia, mukuna, labulabu, aluphalpha green leaf n’ebirala kuba nagwo ngukolamu ssente nga ngutunda n’ensigo zaagwo era nga tusomesa abalimi n’abalunzi okutandika ssamba z’omuddo”, bw’agamba.

Assa essira ku kulima lumonde ekika kya Naspot 11, New Kawogo okuva mu Uganda ne Wagaborige okuva e Kenya ngono atemwako malagala era ng’asobola okubeerawo okumala emyaka ate Wagaborige atuuka ku myaka etaano wabula yeetaaga okugimusa.

“Naspot 11 ne New Kawogo osobola okukungulako ttani z’amalagala 5-6 buli mwaka ate Wagaborige ttani musanvu nga buli ttani osobola okugitunda ku 500,000/- olwo n’ofuna obukadde bubiri n’ekitundu okutuuka ku bukadde busatu n’ekitundu. Kyokka singa okolamu sayiregi, buli kkiro ya 500/- kyokka nga muno agattamu bulandi wa kasooli”, bw’annyonnyola.