Ekibalo ky’okuzimba enju oba okugula ewedde

ABANTU abaagala okuzimba bangi bazibuwalirirwa okusalawo ku kika ky’ennyumba gye balina okutandikirako okuzimba ekibaleetera oluusi okukola okusalawo okukyamu okubaleetera n’okwejjusa. Abamu obasanga nga balemeddwa okusalawo ku kuzimba ennyumba z’abapangisa n’ey’okusulamu ekirina okusooka. Waliwo abalowooza nti bo tebajja kutawaana na kuzimba nga balinze kugula ziwedde. Kuno kw’ogatta n’abakkiriza nti balina kutandikira ku nnyumba ya mu kyalo nga tebannazimba ku kibuga. Abakugu bakulaze ebirungi n’ebibi by’okusomoozebwa kw’oyitamuAguze ennyumba n’azimbye eyiye ani asingaYINGINIYA Muhammad Nsereko owa 3M Design and Construction yagambye nti buli kimu kirina enkizo ku kinnaakyo. Waliwo embeera aguze w’ayinza okusingira azimbye ate olumu n’asazeewo okuzimba w’abeerera n’enkizo. Ekirungi ky’okugula ennyumba ewedde kikuyamba okwewala emitendera omuntu gy’oyitamu ng’ozimba. Kikwetaagisa kulambula nnyumba na kukakasa nti gw’ogulako ye nnannyini omutuufu nga mukola ndagaano ya buguzi na kukyusa kyapa. Bw’okola ensobi oyinza okuferebwa! Bwe bikusanga nga tolina budde bulabirira mulimu oba ng’okolera wala, okugula ewedde kisingako. Ennyumba eziwedde zitera okutundibwa ssente entono kuba abatera okutunda bamala kubeera nga bafunye obuzibu. Okugula ewedde kikuyamba okufuna emiriraano gye weetaaga okusinga bwe weezimbira mu kitundu kyokka baliraanwa ne bafuula ekitundu enzigotta nga bakecula poloti. Okugeza oyinza okuba ng’oyagala kuliraana ssomero, okumpi n’omulimu oba ne mikwano gyo. Abamu ssente bazifunira mu ngeri ya ddiiru ng’emikisa gyazo okukuyita mu ngalo gibeera mingi. Mu mbeera eno aguze ennyumba ewedde asingako. Ekibi ky’okugula ennyumba ewedde oyinza obutafuna ky’oyagalira ddala. Oyinza okusanga ennyumba ey’ebisenge bina ng’erina ekinaabiro kimu, kyokka nga ggwe wandyagadde buli kisenge okubeeramu ekinaabiro. Ate bw’obeera weezimbidde obeera n’omukisa okuzimba ennyumba y’ekirooto kyo ng’oteekamu n’obunene bw’oyagala. Waliwo n’ebintu ebiri ku mulembe by’osobola okuteeka ku nnyumba okusinga okusanga ebyakozesebwa edda nga byava dda ku mulembe. Kizibu n’okumanya obugumu bw’ennyumba gy’oteezimbidde kuba abamu ebipimo babitabula bubi. Oyinza okulowooza nti odondodde, ofunye ewedde naye nga tegenda kuwangaala.Ebirala kw’oyinza okusinziira okusalawoOkugula ennyumba n’okutandika bizinensi Ying. Katende yagambye nti osobola okubeera n’ennyumba ennungi eyeeyagaza, kyokka nga ssente zonna ozimalira mu kugirabirira wadde nga terina ky’eyingiza. Ebintu nga okusasula amasannyalaze, okuzzaako langi, okusaawa omuddo, bitwala ssente nnyingi. Agamba nti osobola okusooka bizinensi ekola ssente ezisobola okuzimba oluvannyuma. Bw’oba osazeewo okugula ennyumba wandibadde ogula gy’osobola okuyimirizaawo. Si kirungi kwemalako ssente zonna ng’ogula ennyumba kuba olumu ojja kwesanga nga mulimu n’ebintu bye weetaaga okukyusa. Kyokka Jane Nakimbugwe, omusomesa w’ebyenfuna e Makerere yagambye nti bizinensi ennaku zino zaafuuka nzibu nga kizibu okwesigula nti ejja kukola amagoba. Awagira abeera asoose okuzimba naye bwe weesanga ng’ennyumba eri wala n’omulimu osobola okusooka okugipangisa n’ofunamu ssente. Za bapangisa oba za kusulamu Katende yagambye nti kisinziira ku muntu azimba ne ffamire gy’alina. Bw’obeera tolina mukazi oba nga famire tennagaziwa osobola okusooka okusula ku nnyumba za bapangisa okusinga okusookera ku kuzimba ennyumba y’ebisenge ebina by’otojja kusulamu. Kyokka ku muntu eyeesanze ng’alina abaana abawera ababiri n’okusingawo ng’akyapangisa bw’afuna w’ajja ssente kirungi okusooka okuzimba ennyumba w’onookuliza abaana obulungi. Nakimbugwe agamba nti tewali kintu kiwa ssanyu na mirembe nga muntu okubeera mu nnyumba gye weezimbidde. Yagambye nti wadde abamu bazimba ne basula n’abangisa ku nnyumba, kyokka osigala ebizibu by’okupangisa ebimu ng’obigabanako. Nsooka boys quarter oba nnyumba nnene? Cathy Namirimu ow’e Mutundwe agamba nti ssente ezizimba Boys quarter zikola kinene ku nnyumba ennene. Kibeera kikyamu okukozesa obukadde obuwera 10 nga weekwasa nti tolina ssente za wamu ate ng’ennyumba ennene yeetaagisa obukadde 25 okugisitula. Yinginiya Moses Mugagga yategeezezza nti omuntu bwe yeesanga mu mbeera nga ssente z’alina zimumala kuzimba boys quarter tamulinaako buzibu na kutandika nayo. Kimuluma okulaba ennyumba ezaakwama, kyokka bannannyini zo nga bakyapangisa. Kyokka boys quarter erina okuzimbibwa mu kifo kyennyini awatajja kuzimbwa nnyumba nnene. Abamu bakola ensobi ne bazimba boys quarter nga tebamaze kupima. Nsooke kunyiriza munda oba wabweru Abantu bangi baagala nnyo okusooka okunyiriza ebweru nga munda tewakoleddwa. Ennyumba nnyingi ezitemagana ku ngulu weewuunya okuyingira mu bisenge oba emmanju nga si nkube pulasita. Kyokka singa obeera otandikidde mu bifo by’omunda, kikwanguyira okunyiriza wabweru kuba obeera n’ebbanja nga likulumiriza okutuukiriza. Nsituleko ekitundu oba yonna omulundi gumu Yinginiya Katende agamba nti kibeera kirungi okusooka okubalirira ssente ze wandyetaaze okumaliriza ennyumba omulundi ogumu. Bw’olaba nga ssente z’olina tezimala, kyokka nga bw’ositulako ekitundu zikumala kye wandibadde okola

Ekibalo ky’okuzimba enju oba okugula ewedde
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABANTU abaagala okuzimba bangi bazibuwalirirwa okusalawo ku kika ky’ennyumba gye balina okutandikirako okuzimba ekibaleetera oluusi okukola okusalawo okukyamu okubaleetera n’okwejjusa. Abamu obasanga nga balemeddwa okusalawo ku kuzimba ennyumba z’abapangisa n’ey’okusulamu ekirina okusooka. Waliwo abalowooza nti bo tebajja kutawaana na kuzimba nga balinze kugula ziwedde. Kuno kw’ogatta n’abakkiriza nti balina kutandikira ku nnyumba ya mu kyalo nga tebannazimba ku kibuga. Abakugu bakulaze ebirungi n’ebibi by’okusomoozebwa kw’oyitamu

Aguze ennyumba n’azimbye eyiye ani asinga

YINGINIYA Muhammad Nsereko owa 3M Design and Construction yagambye nti buli kimu kirina enkizo ku kinnaakyo. Waliwo embeera aguze w’ayinza okusingira azimbye ate olumu n’asazeewo okuzimba w’abeerera n’enkizo. Ekirungi ky’okugula ennyumba ewedde kikuyamba okwewala emitendera omuntu gy’oyitamu ng’ozimba. Kikwetaagisa kulambula nnyumba na kukakasa nti gw’ogulako ye nnannyini omutuufu nga mukola ndagaano ya buguzi na kukyusa kyapa. Bw’okola ensobi oyinza okuferebwa! Bwe bikusanga nga tolina budde bulabirira mulimu oba ng’okolera wala, okugula ewedde kisingako. Ennyumba eziwedde zitera okutundibwa ssente entono kuba abatera okutunda bamala kubeera nga bafunye obuzibu. Okugula ewedde kikuyamba okufuna emiriraano gye weetaaga okusinga bwe weezimbira mu kitundu kyokka baliraanwa ne bafuula ekitundu enzigotta nga bakecula poloti. Okugeza oyinza okuba ng’oyagala kuliraana ssomero, okumpi n’omulimu oba ne mikwano gyo. Abamu ssente bazifunira mu ngeri ya ddiiru ng’emikisa gyazo okukuyita mu ngalo gibeera mingi. Mu mbeera eno aguze ennyumba ewedde asingako. Ekibi ky’okugula ennyumba ewedde oyinza obutafuna ky’oyagalira ddala. Oyinza okusanga ennyumba ey’ebisenge bina ng’erina ekinaabiro kimu, kyokka nga ggwe wandyagadde buli kisenge okubeeramu ekinaabiro. Ate bw’obeera weezimbidde obeera n’omukisa okuzimba ennyumba y’ekirooto kyo ng’oteekamu n’obunene bw’oyagala. Waliwo n’ebintu ebiri ku mulembe by’osobola okuteeka ku nnyumba okusinga okusanga ebyakozesebwa edda nga byava dda ku mulembe. Kizibu n’okumanya obugumu bw’ennyumba gy’oteezimbidde kuba abamu ebipimo babitabula bubi. Oyinza okulowooza nti odondodde, ofunye ewedde naye nga tegenda kuwangaala.

Ebirala kw’oyinza okusinziira okusalawo

Okugula ennyumba n’okutandika bizinensi Ying. Katende yagambye nti osobola okubeera n’ennyumba ennungi eyeeyagaza, kyokka nga ssente zonna ozimalira mu kugirabirira wadde nga terina ky’eyingiza. Ebintu nga okusasula amasannyalaze, okuzzaako langi, okusaawa omuddo, bitwala ssente nnyingi. Agamba nti osobola okusooka bizinensi ekola ssente ezisobola okuzimba oluvannyuma. Bw’oba osazeewo okugula ennyumba wandibadde ogula gy’osobola okuyimirizaawo. Si kirungi kwemalako ssente zonna ng’ogula ennyumba kuba olumu ojja kwesanga nga mulimu n’ebintu bye weetaaga okukyusa. Kyokka Jane Nakimbugwe, omusomesa w’ebyenfuna e Makerere yagambye nti bizinensi ennaku zino zaafuuka nzibu nga kizibu okwesigula nti ejja kukola amagoba. Awagira abeera asoose okuzimba naye bwe weesanga ng’ennyumba eri wala n’omulimu osobola okusooka okugipangisa n’ofunamu ssente. Za bapangisa oba za kusulamu Katende yagambye nti kisinziira ku muntu azimba ne ffamire gy’alina. Bw’obeera tolina mukazi oba nga famire tennagaziwa osobola okusooka okusula ku nnyumba za bapangisa okusinga okusookera ku kuzimba ennyumba y’ebisenge ebina by’otojja kusulamu. Kyokka ku muntu eyeesanze ng’alina abaana abawera ababiri n’okusingawo ng’akyapangisa bw’afuna w’ajja ssente kirungi okusooka okuzimba ennyumba w’onookuliza abaana obulungi. Nakimbugwe agamba nti tewali kintu kiwa ssanyu na mirembe nga muntu okubeera mu nnyumba gye weezimbidde. Yagambye nti wadde abamu bazimba ne basula n’abangisa ku nnyumba, kyokka osigala ebizibu by’okupangisa ebimu ng’obigabanako. Nsooka boys quarter oba nnyumba nnene? Cathy Namirimu ow’e Mutundwe agamba nti ssente ezizimba Boys quarter zikola kinene ku nnyumba ennene. Kibeera kikyamu okukozesa obukadde obuwera 10 nga weekwasa nti tolina ssente za wamu ate ng’ennyumba ennene yeetaagisa obukadde 25 okugisitula. Yinginiya Moses Mugagga yategeezezza nti omuntu bwe yeesanga mu mbeera nga ssente z’alina zimumala kuzimba boys quarter tamulinaako buzibu na kutandika nayo. Kimuluma okulaba ennyumba ezaakwama, kyokka bannannyini zo nga bakyapangisa. Kyokka boys quarter erina okuzimbibwa mu kifo kyennyini awatajja kuzimbwa nnyumba nnene. Abamu bakola ensobi ne bazimba boys quarter nga tebamaze kupima. Nsooke kunyiriza munda oba wabweru Abantu bangi baagala nnyo okusooka okunyiriza ebweru nga munda tewakoleddwa. Ennyumba nnyingi ezitemagana ku ngulu weewuunya okuyingira mu bisenge oba emmanju nga si nkube pulasita. Kyokka singa obeera otandikidde mu bifo by’omunda, kikwanguyira okunyiriza wabweru kuba obeera n’ebbanja nga likulumiriza okutuukiriza. Nsituleko ekitundu oba yonna omulundi gumu Yinginiya Katende agamba nti kibeera kirungi okusooka okubalirira ssente ze wandyetaaze okumaliriza ennyumba omulundi ogumu. Bw’olaba nga ssente z’olina tezimala, kyokka nga bw’ositulako ekitundu zikumala kye wandibadde okola