Okuziika abaana abataano abafamire emu abaafudde oluvanyuma lw'okunywa eddagala ly'omuddo ne bafa kugenda mu maaso ku kyalo Kiweeka ne Kirangira mu gombolola ye Lwamaggwa e Kooki mu Rakai. Abaana bano bonna bazzukulu ba Muzeeyi Edward Ssemwezi banywedde eddagala elyabaweereddwa Jjajjabwe nga yabadde alowooza nti mululuuza bweyabadde atadde kiccupa ekifaanana n'ekyabaddemu eddagala lyomuddo bonna ne bafiira mu ddwaaliro e Kitovu gye babadde baddusiddwa okutaasa obulamu