Poliisi eyingidde mu by'abaana abaanywedde obutwa ne bafa

POLIISI mu disitulikiti y’e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu abataano okunywa eddagala erifuuyira omuddo ne bafa nga batuusiddwa mu ddwaaliro e Kitovu. 

Poliisi eyingidde mu by'abaana abaanywedde obutwa ne bafa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI mu disitulikiti y’e Rakai eyingidde mu kunoonyereza ku kituufu ekyaviiriddeko abaana aba famire emu, abataano okunywa eddagala erifuuyira omuddo ne bafa nga batuusiddwa mu ddwaaliro e Kitovu. 

Yadde bano baafiiridde mu ddwaaliro era lipoota nneeraga nti baafudde butwa obw’eddagala ery’ekika kya Parakwaati kyokka poliisi e Rakai yasoose kulemesa baaluganda okugenda mu maaso n’okuziika ng’egamba nti erina kusooka kussaawo okunoonyereza nayo ezuule ekituufu.

Omuduumizi wa poliisi y’e Rakai, Shifa Kiribwa yategeezezza nti mu kunoonyereza kuno tewali muntu n’omu y’akwatiddwa ku byekuusa ku kufa kw’abaana bano kyokka bakyagenda mu maaso n’okukola ogwabwe.

Entiisa eno yabadde ku kyalo Kiweeka mu ggombolola y’e Lwamaggwa e Kooki mu disitulikiti y’e Rakai nga bonna abaafudde baabadde bazzukulu ba Mzee Edward Ssemwezi. Bano baali bazze kulya Paasika ewa jjaja waabwe.

Abaana abaafudde kuliko:  Swabula Nansamba 1.5, Jovan Kukkiriza 5, Eriajah Jjingo 4, Shivan Mirembe 8 ne Alpha Kamoga 11. 

Baaziikiddwa ku biggya eby’enjawulo ng’abasatu baziikiddwa ewa Jjajaabwe  azaala kitaabwe Mzee James Mulengera ku kyalo e  Lwamaggwa ate ababiri baziikiddwa mu maka we bazaala Jjajaabwe  Mzee Edward Ssemwezi e Kirangira.