Poliisi eyingidde mu nsonga z'abaana abaafudde eddagala

Bya JohnBosco MulyowaPoliisi mu disitulikiti ye Rakai eyingidde mu kunoonyereza engeri abaana abataano abafamire emu gye banyweddemu eddagala erifuuyira omuddo ne batuuka bonna okufiira mu ddwaaliro e Kitovu e Masaka gye babadde baddusiddwa. Bano okunywa eddagala lino lyabaweereddwa Jajjabwe Mukyala Edward Ssemwezi ku kyalo Kiweeka mu gombolola ye Lwamaggwa ng'ono yasoose kubafumbira ddagala lyamululuuza lyetatadde mu kicupa ekifaanana ne kyabaddemu eddagala ly'omuddo elya Palakwaati era mu kujja okubawa ate yakutte kicupa kyaddagala n'abawa ne banywa!! Omudduumizi wa poliisi ye Rakai Shifah Kiribwa ategeezeza nti batandise okunoonyereza ku kituufu ensobi weyavudde abaana bano okunywa eddagala lyobutwa buno. Bya Johnbosco Mulyowa Raka

Poliisi eyingidde mu nsonga z'abaana abaafudde eddagala
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya JohnBosco Mulyowa

Poliisi mu disitulikiti ye Rakai eyingidde mu kunoonyereza engeri abaana abataano abafamire emu gye banyweddemu eddagala erifuuyira omuddo ne batuuka bonna okufiira mu ddwaaliro e Kitovu e Masaka gye babadde baddusiddwa. Bano okunywa eddagala lino lyabaweereddwa Jajjabwe Mukyala Edward Ssemwezi ku kyalo Kiweeka mu gombolola ye Lwamaggwa ng'ono yasoose kubafumbira ddagala lyamululuuza lyetatadde mu kicupa ekifaanana ne kyabaddemu eddagala ly'omuddo elya Palakwaati era mu kujja okubawa ate yakutte kicupa kyaddagala n'abawa ne banywa!! Omudduumizi wa poliisi ye Rakai Shifah Kiribwa ategeezeza nti batandise okunoonyereza ku kituufu ensobi weyavudde abaana bano okunywa eddagala lyobutwa buno. Bya Johnbosco Mulyowa Raka