Abasoma obusomesa babangubuddwa mu by'emikono okugaziya enfuna

ABAYIZI abasoma obusomesa ku nnoni bagattiddwako n'okubangulwa mu mirimo egy'emikono kibanguyize obulamu nga batandise okusomesa.

Abasoma obusomesa babangubuddwa mu by'emikono okugaziya enfuna
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bano obusomesa babutendekerwa mu Kibuli Muslim Core Primary Teacher mu Kampala.

Enteekateeka eno ewomeddwamu omutwe Jjajja w'Obusiraamu  Omulangira Kassim Nakibinge n'aboolukiiko lwe  olufuzi ne bagikwasa alikulira; Hajat Aidah Nambuusi Kibedi.

Kino kikoleddwa okunnyikiza ebiruubirirwa bya Gavumenti nti abayizi bakugukeko ne mu by'emikono bibayambe okweyimitizaawo  n'okubakendeereza ku bbulwa ly'emirimo.

Funa3

Funa3

Hajat Kibedi ategeezezza nti okuva lwe bakendeerezebwa ku muggalo gwa COVID 19,baatandikirawo okugattirako abayizi okutendekebwa mu by'emikono eby'enjawulo nga mu kiseera abaatandikirwako babikuguseemu.

Mu bino mwe muli okukola ebizigo,ssabbuuni ow'amazzi,emisubbaawa,okusiika ebyokulya ebitali bimu,okukamula eby'okunywa.

Babanguddwa mu bukodyo bw'okubyongerako omutindo mu bipimo ebikkirizibwa mu mateeka g'ebyobufuubuzi n'okubinoonyeza obutale babifunemu ssente nga tebibadibiridde.

Funa2

Funa2

Hajat Kibedi annyonnyodde nti bagasseeko n'okubasomesa eby'obulimi eby'omulembe olwokunnyikiza omulanga gwa Ssabasajja ogw'enkumbi terimba nti nabyo babifunamu ssente n'emmere mu maka.

Agambye nti baagala omusomesa afulume ng'alina obusobozi obwebeezaawo nga teyeesigamye ku musaala gwokka.

Funa1

Funa1

Hajat Kibedi akkaatirizza nti ensomesa  egasse ennoni ku by'emikono ejja kugasa nnyo abasomesa b'omulembe guno okubagobako obwavu bwe baludde nga bubalangirwa.

Akunze abasomesa n'abazadde okugyettanira kuba n'obutale bw'ebikolebwa bubaliraanye mu bitundu mwe bawangaalira.