Omusambi w’omuipiira mu ttimu ya Police FC Derric Kakooza yakwadiddwa ekirabo omuva ewa pulezidenti wa UOC era nga ye ssentebe wa NCS, Dr. Donald Rukare n’agamba nti ayagala mu myaka etaano awangule engule ya Balando eteebwa omusambi asinze mu Bulaaya.
Alaze essuubi nti ekiseera kyonna agenda kutandika okusamba omupiira gw’ensimbi mu Bulaaya.
Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina kya USPA baalonze Kakooza mu buzannyi bwa March nga bamusiima okuzannya obulungi mu mpaka za CAF U-20 ezaabadde e Cameroon omwezi oguwedde.
Baabadde ku kijjulo kya Nile Special – USPA Monthly Dinner mu Imperial Royale Hotel.
Husina Kobugabe eyalondeddwa aba USPA ku buzannyi bwa February ne Rukia Naiga owa Pool naye eyalondebwa ku buzannyi bwa January yakwasiddwa ekirabo.
Pulezidenti wa UOC era nga ye ssentebe wa NCS, Dr. Donald Rukare wamu n’omu ki bakiise ku lukiiko olufugfa Vision Group Moses Mwase be baakwasizza abawanguzi ebirabo. Mwase era mumyuka wa pulezidenti wa UOC era pulezidenti w’ekibiina ky’Okuwuga.
“Tusiima USPA okuzza amaanyi mu bazannyi. Kati tutunuulidde Commonwealth Games ze Birmingham wamu n’okutegeka abagenda mu Tokyo 2020 Olympics,” Dr. Rukare bwe yategeezezza.
Abawanguzi buli omu yagunye ekirabo n’ensimbi 500,000/=.