Mc Maswanku,Katayira wa Bukedde Fa Ma yeetisse Buloba n'agibuutikira!
Aug 15, 2023
OLWOMUKAAGA kye kyabadde ekivvulu kya Katayira wa Bukedde Ffama Embuutikizi, Hannington Jjuuko, amanyikiddwa nga MC Maswanku kye yatuumye ‘The best of Mc Maswanku ku muzindaalo’.

NewVision Reporter
@NewVision
Olwomukaaga kye kyabadde ekivvulu kya Katayira wa Bukedde Ffama Embuutikizi, Hannington Jjuuko, amanyikiddwa nga MC Maswanku kye yatuumye ‘The best of Mc Maswanku ku muzindaalo’.
Omuvubuka Ng'asimba akagere ate ddyo Ye Mc Maswanku.
Ono yabuutikidde Buloba n’endongo y’Ebinyaanyanyaanya ng’ekifo kyafunze ne kiwaliriza abamu ku badigize okulinnya emiti bajoote bulungi.
Aba Bodaboda Nga Batuusa Maswanku Mu Kivvulu.
Zaagenze okuwera ssaawa 2:00 ez’akawungeezi ng’abadigize batuuka ku Danna Park ng’endongo ssatu azituuzizza mu kifo kimu zisindogoma.
Waasoseewo abayimbi abato ne bakuba endongo oluvannyuma abanene okwabadde Stabua Natoolo, Darx kartel, Kabako, Gift Nakimuli n’abalala nabo ne basanyusa abantu.
Maswanku Ku Muzindaalo Gw'asinga Okutegeeera.
Ku ssaawa mukaaga n’ekitundu ez’ekiro, Maswanku yaleeteddwa banywaanyi be aba bodaboda mu mizira era olwatuuse ku siteegi n’abaka omuzindalo nalyooka atandika okwaasira endongo y’Ebinyaanyaa ng’eno Suna Ben ne Mbaziira Tonny bwe babikologa wamma ne kisukka olwo abadigize ne balyoka basimba akagere nga bwe bakiyita mu ndongo y’ebinyaanya okutuusa obudde okukya.\
Abamu baawalampye Emiti Okunyumirwa Ekinyaanya.
Maswanku baamutonedde ebirabo era yeebazizza abamufudde kyali okuli emikutu gya vision group etwala ne Bukedde, bakulu be Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny n’abalala.
Ekivvulu kya Maswanku kyategekeddwa Joel Promotions ne kiwagirwa Bukedde, Danna Events, Zoenah Zai Skin Beauty Center ne Gold Ama Cream liqueur era kitunzi wa Gold Ama Josephine Nakawunde yasiimye Bukedde olw’okukwata ku bavubuka n’okubawa omukisa okukyusa obulamu.
Suuna Ben Ne Mbaziira Nga Batabula Ekyuma.
No Comment