Abalunzi b’ente e Kyankwanzi bakaaba
Sep 23, 2023
ABALUNZI b’e Kalagi mu ggombolola y'e Nsambya mu disitulikiti ya Kyankwanzi balaajanidde gavumenti ku bakozi b’ekitongole ky’ebibira abawamba ente zaabwe ne babaggyako ssente okuzibaddiza.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
ABALUNZI b’e Kalagi mu ggombolola y'e Nsambya mu disitulikiti ya Kyankwanzi balaajanidde gavumenti ku bakozi b’ekitongole ky’ebibira abawamba ente zaabwe ne babaggyako ssente okuzibaddiza.
Bano abasoba mu 30 baliraanye ekibira kya Kikonda Forest Reserve. Balumiriza nti abakozi bwe bawamba ente, emu okugiggyayo osasula 20,000/- kye bagamba nti kibaleetedde okukubwa obwavu.
Abalunzi nga bakulembeddwa ssentebe w’ekyalo Kyabadibo, James Katunji baagambye nti weesanga ng’omuntu omu ente ze nga 100 ziyingidde ekibira.
Kati bwe baziwamba, kibeera kitegeeza okusasula obukadde 2 kwe kusaba babeere ba kisa gye bali.
Abalunzi bagamba nti amazzi ga bbula mu kitundu kyabwe naddala mu biseera eby’ekyeya sso nga munda mu kibira mulimu ddaamu eyasimibwa nga yo tekalira.
Ente ziwaguza ne zigendayo era bwe bazikwatirayo nga basaba ssente. Katunji yagambye nti abalunzi batulugunyiziddwa okumala emyaka 12 emabega naye abakulembeze ba disitulikiti tebabayambye.
Ng’oggyeeko okuwamba ente zaabwe, abalunzi balumiriza nti bwe bazibatwalako, bagenda bazikuba era ezimu ezibeera amawako gavaamu.
Era balumiriza nti bwe bakwata ente zaabwe, bazisibira mu lugo ne zibeera omwo nga tezirya yadde okunywa.
ABAKOZI B’EKIBIRA BASOBYA KU BAWALA BAFFE
Mu ngeri yeemu, baalumirizza abakozi b’ekibira kino abasajja okusobya ku bawala b’abatuuze bwe baba bagenzeeyo okukima amazzi, okutyaba enku. N’abayita mu kibira nga bagenda ku ssomero, nabo babalumiriza nti babasobyako.
Okusinziira ku maneja w’ekibira kino, Sonai Mutu abakozi be tebalina buzibu kuba balina amateeka kwe bakolera. Eky’okuwamba ente yagambye nti kituufu kikolebwa kuba zibeera mu kifo kikyamu era okulundira mu kibira kimenya mateeka.
Yagambye nti kituufu buli nte ekwatibwa, okuginunula osasula 20,000/-.
Ekibira kino kyetooloddwa amagombolola okuli; Nsambya, Butemba Town Council, Kigando, Byerima ne Butemba.
Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti ye Kyankwanzi, Philbert Waibu yasabye abalunzi obutaddamu kulundira mu kibira ekyo kubanga kimenya mateeka.
No Comment