Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ofiisi ya Katikkiro w'eggwanga eryo, okuyimiriza Bamporiki kwavudde ku nsonga za kuwa mbalirira ezaamulemye okunnyonnyola nga kiraga nti yatigiinya ensimbi z'omuwi w'omusolo kwe kulagira anoonyerezebweko era ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango ekya Rwanda Investigation Bureau ku mukutu gwakyo ogwa 'Twitter'.

Bamporiki Edouard
Bamporiki, 39, abadde muwagizi nnyo wa Kagame n'ekibiina kye ekiri mu buyinza era alina amaanyi mangi ku mikutu gya 'Social Media', muwandiisi wa bitabo, mukozi wa firimu, era muzannyi wa mizannyo egy'oku leediyo.Ono era abadde ku lukiiko lwa Kabineeti okuva mu 2019. Bamporaki yaliko omubaka mu Palamenti gye buvuddeko.